Munno mu kabi yabeera munno wo
Omuntu akwagala naawe ggwe gw’oyagala
Teweesibangako bakwagala masanyu
Nga bw’oba mu buzibu aba takyakulaba
Naddala abakazi ng’oli mwavu weerimbye
Abasinga obungi banoonya bya kufuna
Baagala alina tozannyisa nsimbi
Nga zaakuweddeko teri aseka naawe
Omanyi ensimbi ziba nyangu za kufuna
Naye okuzikuuma ky’ekizibu okukola
Abasinga wano baali bafunye ensimbi
Ne ziggwawo nga tebakoze ntegeka
Bw’obuuza ekyazitta nga kinaana ku kikumi
Bawoza bya nsimbi naawe bizibu obimanyi
Teri akulaga nti okulima kwa vanilla
Zaafiira omwo abasinga gaba masanyu
Komya amalala go
N’ebyokweyita omuto gundi ŋamba bireke
Zirye kivubi weerage
Maaso gy’olaga ensi eno yandikunyiga
Enviiri eziddugala z’ezo
Ezikolerera enjeru ggwe fissa otegeke
Tukooye address yo eswaza
Eya nsula ku za Nakato yiiya ozimbe
Kann Records
Kati muli obuuza nti Kazibwe ye ayogera
Yekoledde ka ki adde ku ffe yeyogeze?
Sirina sewaana, kuba era ssinafuna
Naye sikwagaza kuba nga bwe ntunula
Kye nva nkulengeza ekituufu eky’okukola
Nti okutereka ly’ekkubo ly’okufuna
Tokola bye nkola kola nga bwe gambye
Kyawandiikwa mu kitabo ekikulu
Ekitusudde abavubuka nkimanyi
Twegomba nnyo grades empanvu
Bw’onyumya n’omugagga n’atumya soda
Nga naawe obayita nti bampe ka Stoney
Sooka weebuuze nti oli anwyedde ka soda
Ayimiridde atya gwe tonywa kabampaane
Okulya ssi kibi obulamu kye kikulu
Pima ensawo yo n’enkya lwagala olukopo
Njagala olengeremu mu maaso gy’ogenda
Weetegekere ng’okyalina amaanyi
Maaso gye bujja tolikola entondo
Myaka nsanvu ng’obigikwa agasawo
Temundaba bubi abavubuka amalala
Gaatwonoonye mu biseera eby’okukola
Osanga alinawo kaatandise okukola
Oyo n’ojerega afuna mmeka mwako?
Nze ssi bikola mbeererawo ne nfa
Nfisse olukumi olwo ndigula ddi essaati?
Bw’omubuuzaamu nti ofuna mmeka olunaku?
Akuddamu sirina simenyeka bya kisiru
Kyokka ate olw’eggulo omukozi gw’ajerega!
Gw’asaba olukumi bw’alumumma n’ayomba
Ekintu kweraga oluyonjo n’amalala
Otambula ozimba emyaka gikkubye kabba
Obwavu buluma eyali afunye ensimbi
Ne ziggwawo gundi linda bya kuwoza
Buli w’oyita ne bageya makubo
Yalina ssente oyo ggwe tolaba duniya
Kankyogereko oba munkyawa munkyawe
Kubanga tuswala abantu abakulu
Mulina n’abaana watya nga lukunnyudde?
Bye bulirangirwa bulikya bu baabuwe
Tosiriwala kitaawo ze yakola
Yanywanga nywe n’okukyakaza abakazi
Ne twegyagyatta mizigo gy’ekibuga
Olilaba omulambo gwo okubulwa ew’okusula
Twesabire nnyo abatannaba kufuna
Naye bw’ozifuna ate tokola amalala
Abazirina mukole bye ŋŋambye
Mutegeke ebikalu nga mukyalina ensimbi
Totuuka okwegomba ng’ate zikkubye kabba
Owoze bwe nafuna singa kale ne nzimba
Mbagambyeko olwo kamukole entondo
Omanyi ababuulira mukuyita kuvuma
Naye abavubuka mmwe mukomye amalala
Kabampaane mpaawo gundi gy’ogenda
Kye kinjagaza kuyiiya bya makulu
Kamunguluze ssi muyita nsimbu
Kazibwe Kapo geego ge bantuuma
Bw’otuuka e Saudi erya Issa lw’onsanga
Tegeka ng’okyalina amaanyi
Nga tekyali kya kuzza
Obukadde bunyuma otegese
Kya buswavu bannange
Tegeka ng’okyalina amaanyi
Nga tekyali kya kuzza
Obukadde bunyuma otegese