Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko

Essaawa ng’egenze!
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Otulo gwe tukutte

Agamba mwana wange ebirungi bibyo twala
Gwe tomufaako olinda mpozzi kulwala
Asaba omufissizeeyo ku kadde
Gwe eyakutonda onyigawo akaseera
Katonda nannyini nsi
Tumussa ku kanaayokya ani!
Tweyita baana b’ani?
Mukama tumujooga bujoozi
Ooh oh! Nga tetuswala!
Buli lunaku ne tupaala
Twefudde abatamulaba
Ng’ebibye twongera birya
Yiiyi! Yiiyi!!!

Mukama atusimbye amaaso abiri
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Ayagala tukyuke tudde gyali, twenenye
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko
Mukama atusimbye amaaso abiri, yiiyi!
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Ayagala tukyuke tudde gyali, twenenye
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko

Katonda wange omulungi
Taata ampisa mu matumbi
Omutima n’omwoyo gwange bibyo
Nabikukwasa obisumbe
Buli kimu ekyange kakibe kiki
Nakirekera gwe Mukama
Aboomumaka gange ne ba muliraanwa
By’oyagala babikole
Nsaba bukuumi mu bye nkola
Ba malayika bo bannyambe
Nsaba tuswaze
Bano abagenda bewunza
Bagenda bavuya
Mbu enkomerero y’ensi ekoma wano!
Nze Mukama nsaba entebe mu ggana lyo
Ntuule ne Malayika zo enkumi, nesiime eh

Mukama atusimbye amaaso abiri
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Ayagala tukyuke tudde gyali, twenenye
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko
Mukama atusimbye amaaso abiri, yiiyi!
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Ayagala tukyuke tudde gyali, twenenye
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko

Nze wamma Mukama buno obulamu bwange
Nabukuwa kati sitaani aswale
N’abeegulumiza ddala mbasekeredde
Amaaso mwafuna naye nga gaafa ttogge
Tebiraba, amaanyi gaamufiira ki eyabikola?
Twenenye atusaasire, ate bw’akuwa
Omutonzi okola obubi obuteebaza, eh eh eh
Tebiraba, amaanyi gaamufiira ki eyabikola?
Twenenye atusaasire, ate bw’akuwa
Omutonzi okola obubi obuteebaza naawe kikusanyusa
Singa gwe wazaala aba awulira
Towakana kikwekabya
Embuzi gye walunda bwetava mata
Olwo ye Katonda wo, eeh eh!

Mukama atusimbye amaaso abiri (tudde gy’ali)
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Ayagala tukyuke tudde gyali, twenenye
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko
Mukama atusimbye amaaso abiri, yiiyi!
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Ayagala tukyuke tudde gyali, twenenye
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko

Essaawa ng’egenze!
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Otulo gwe tukutte
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko
Essaawa ng’egenze!
Gwe laba otudde nga naye obudde bukuweddeko
Otulo gwe tukutte
Katonda omusudde labayo n’odda mu ppokoppoko

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *