Gano amaviivi tegalimenyeka
Kusinza Katonda mulala ah
Nze kuba manyi nti
Bonna obakira
Na gino emimwa tegiriyasama
Ah kuyimbira Katonda mulala
Kuba mmanyi nti
Ne kino ekitone gw’akigaba

Kati nkusinze ntya?
Nnyimbe ntya omanye nti nkwagala kufa?
Yeggwe madaala
Kwempalampira dear okutuuka gyendaga
Hmmm, ekisa ky’ondaga
Nze kimpa buvumu daddy okuwangula
Ge maanyi gennina
Ageewunyisa abalabe abeewaga

Kati ntukuliza ebigere byange
Ogaziye ensalo zange
Fuka amafuta ku lulimi lwange
Nga bwenkusinza gankomako

Nandiba sirina bingi nnyo nsi byeraba
Naye omukka gwenzisa nagwo era gwa buwa
N’okutambula obutambuzi okutuuka gyendaga
Eba nteekateeka yo yeggwe abitegeka

Leka tukuddize amatendo (Hosanna)
Buli lulimi lwatulenga (Hosanna)
Teri akwenkana kitiibwa (Hosanna)
Alpha and Omega (Hosanna)
Oh byewasuubiza obituusa (Hosanna)
Gwe toli nga mwanadamu (Hosanna)
Lwaki seesigama ku gwe? (Hosanna)
Omale ensonga zange (Hosanna)
Alpha and Omega (Hosanna)
Alpha and Omega (Hosanna)
Redzone, yeah (Hosanna)
Sign out

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin