Aaah (uuuh)
Aaah (aliva wa?)
Aaah (aliva wa anjagala?)
Ye aliva wa bannange?
Mu nsi eno alinjagala
Alinnyiga ebiwundu eby’omutima
Kuba bingi
Ŋŋamba oyo alibaawo ku lwange
Bwe nkaaba nga naye akaaba
Era nebwemba nga nsobeddwa ah
Aŋŋumyenga
Ddala Mukama kye nkusaba munnange
Nkooye okusula nga nfeesa
Kabiriiti kano akakutula omutima
Eno true story
Abalema obasanga bakaaba ne bamuzibe
Kino kikwekweto kye balimu
Nti Mukama nebwolimpa anyoomwa
Ng’emmeeme ssi ya kinyirikisi
Ntegeeza oyo aliyimirira nange
Atalidduka ng’andaba nga ndi ku kandooya
Nebwendiba seeyinza alimpa ku kawogo nendyako
Uuuh, eeeh eeh
Ye aliva wa bannange?
Mu nsi eno alinjagala
Alinnyiga ebiwundu eby’omutima
Kuba bingi
Ŋŋamba oyo alibaawo ku lwange
Bwe nkaaba nga naye akaaba
Era nebwemba nga nsobeddwa ah
Aŋŋumyenga
Njagala wallet nebweriba nga nkalu
Ng’ebizibu binsibye enkalu
Naye ng’eriyo ambegera ku ggolu, eh
Nkaddiwe n’oyo
Kuba bano bakambwe yadde face zinyereketa
Omulaga chali wo ate enkya nebakukuta
Banyumirwa ffe ng’amaziga gakulukuta
Eby’omukwano birumya
Ye aliva wa bannange?
Mu nsi eno alinjagala
Alinnyiga ebiwundu eby’omutima
Kuba bingi
Ŋŋamba oyo alibaawo ku lwange
Bwe nkaaba nga naye akaaba
Era nebwemba nga nsobeddwa ah
Aŋŋumyenga
Buli kadde gye mbeera nkaaba
Nga nnoonya omuntu omutuufu
Oyo alibaawo mu ssanyu
N’aguma ne mu kaseera akazibu
Lwakuba eby’ennaku zino byakyuka
Tweraba kiro enkya netwanjula
Nebwoba omulinamu ezzadde
Oyo akulekawo n’agenda
Kyova olaba ng’ebyomukwano birumya
Twesuubiza bingi mu ntandikwa
Kyokka ye olumala okufuna ky’ayagala
Ng’olwo amaaso atunuza eri bannange
Ye aliva wa bannange?
(Eh aliva wa, aliva wa?)
Mu nsi eno alinjagala
Alinnyiga ebiwundu eby’omutima
(Aliva wa, aliva wa?)
Kuba bingi
(N’anjagala, n’akwagala)
Ŋŋamba oyo alibaawo ku lwange
Bwe nkaaba nga naye akaaba
(Ng’akaaba)
Era nebwemba nga nsobeddwa ah
Aŋŋumyenga
(Aŋŋumyenga)
Nebwemba nga nsobeddwa ah (ateegaane mwana)
Aŋŋumyenga (anaabeera omulungi)
Nebwemba nga nsobeddwa ah
Aŋŋumyenga (atanvume bubi)
Nebwemba nga nsobeddwa ah (eh)
Aŋŋumyenga (aŋŋumyenga munnange)
Nebwemba nga nsobeddwa ah (si nze nzekka)
Aŋŋumyenga (ne bakazi bannange abandi eyo)
Nebwemba nga nsobeddwa ah
Aŋŋumyenga
Nebwemba hmmm hmmm
Aŋŋumyenga
Moshkan