Manyi nti alidda mpone okukaaba
Antwale gyali nfune emirembe nange
Ndabe ne ku taata gwe saalaba, aah
Eyo entalo, gye zitatuuka
Gwe linda n’essuubi toterebuka

Haaa
Tukimanyi bulungi ffenna (aah)
Nti ensi eno tugiriko kaseera (manyi nti alidda aah)
Lulikya lumu Kabaka (aah)
Bw’alidda n’atutwala gyali (manyi nti alidda)
Eteriba kufa (aaah)
Eteriba na ndwadde (manyi nti alidda aah)
Olwo tuwone ensi eno (aah)
Etugyonyesezza ennyo bweti (manyi nti alidda)
Nkubamu akafaananyi (aah)
Nga malayika abuuza (manyi nti alidda aah)
Be b’ani abo? (aah)
Abambadde ebyeru? (manyi nti alidda)
Yesu n’amuddamu (aah)
Beebo no abaayoza (manyi nti alidda aah)
Ebyambalo mu musaayi gwange, he eeh

Manyi nti alidda mpone okukaaba
Manyi ali kumpi
Antwale gyali nfune emirembe nange
Mu maaso eteri galwadde
Ndabe ne ku taata gwe saalaba, aah
Oooh, aaah
Eyo entalo, gye zitatuuka
Oooh wabulayo kaseera katono
Gwe linda n’essuubi toterebuka
Ooh manyi ali kumpi
Manyi nti alidda mpone okukaaba
Ooh nange ka mulinde
Antwale gyali nfune emirembe nange
Antwale eyo ndifugira wamu naye
Ndabe ne ku taata gwe saalaba, aah
Oooh nange ka mulinde
Eyo entalo, gye zitatuuka
Oooh linda munnange
Gwe linda n’essuubi toterebuka

Haaaa!
Ŋenda ne ntuula awo
Ne ndowooza ku kufa
Ne nkubamu akafaananyi
Ng’abanjagala bampita ssi bawuuna (aah)
Abadde asula mu nju
Ne banserengesa tebaagala kubaliraana
Mwattu kinnuma nnyo (hmmm)
Kimmalamu amaanyi (aaah)
Naye ne nzijukira
Nti balina omukisa abafiira mu Kitaffe
Baliba balamu nate he he eeh
Tulirya wamu n’abo
Emirembe gyonna
Yimba gwe eeeh

Manyi nti alidda mpone okukaaba
Oh manyi ali kumpi nnyo, antwale gyali
Antwale gyali nfune emirembe nange
Ooh ndifugira wamu naye Yesu
Ndabe ne ku taata gwe saalaba, aah
Nze ndabe ne ku maama gwe saalaba
Liriba ssanyu lyokka
Eyo enkalu, gye zitatuuka
Ndabe n’emikwano egyazaawa
Gwe linda n’essuubi toterebuka
Nze nina essuubi

Gwe linda n’essuubi toterebuka
(Ooh linda munnange) x 3

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *