Akati Lyrics – Serena Bata ft. Jose Chameleone

Love is blind
Love is blind
Can’t do without you always
You know I need you oh
You know I need you oh
Paddy Man, Sipapa Entertainment
One Chameleone
Serena Bata

Serena
Osindise atudde baby wange k’ozze (ke nzize okulaba)
Oŋŋambye onjagala, nange nkwagala ate
Gano amaaso n’amatu
Nabituuza mu kkubo birinde
Kaakati k’okyatudde, onzigye katebe ka nsambe
Baby eno love yo yanzibye amaaso
Bano abazunga ssibafeeko abo
Naawe ziba amatu
Twepacce love batye
Tube balwadde mu love (eh eh!)

Both
Sika akati nkulembera babe nze tondeka
Ndi muzibe wo mu love
Ekyo kya kabi
Bwe nziba amaaso ziba amatu
Tube balwadde mu love
Kano akati ngoberera babe ssikuleka
Oli muzibe mu love
Ziba amatu bonna tobafaako ngoberera
Ndi wuwo nze mu love

Both
Ssigudde ddala love yo y’enninnye ku jjoba
(Ofaanana nga nze)
Ne bwemba nzize eky’okulya
Babe bw’ojja nkyekaka
(Nkwagala nnyo nze)
Olwo ne nfenka
Ng’eyasimattuka kkunsa
Sweet love yo, eringa akavunza
Laba ensiiwasiiwa (nange ensiiwasiiwa)
Kyova olaba nkuwaanawaana
(Ka nkuwaane babe)
Serena mukwano gwe njagala
Yoya kyonna nze naakikuwa
Ensimbi zonna nga bwe nzikola (money)
Bakuwe, nze asasula

Both
Sika akati nkulembera babe nze tondeka
Ndi muzibe wo mu love
Ekyo kya kabi
Bwe nziba amaaso ziba amatu
Tube balwadde mu love
Kano akati ngoberera babe ssikuleka
Oli muzibe mu love
Ziba amatu bonna tobafaako ngoberera
Ndi wuwo nze mu love

Chameleone
Yeggwe asaanidde
Abakweriggyako bonna abo bandeke
Bagambe yenze wuwo everyday
Nze gwe wasiima the old days, anyway
Bw’oyagala sweet gwe ndeeta
Kyonna ky’oyoya nga njiiya
Ninze gwe tugende eka
Twafuuka balongo yeggwe nsuuta
Bw’oyagala sweet nga ndeeta (ndeeta)
Bw’oyoya ky’oyagala nze njiiya (njiiya)
Ninze gwe tugende eka
Wasoma omanyi love

Both
Njagala nkulange
Mbeere ng’alanga show (aah ah ah)
Nga bagiyita Serena Bata Bata
Ne ki baby kye (baby wange oyo)
Ekyesuubo kya love
Ndi kuli neewuuba (girl wange oyo)
Kigira ne kintwala
Ate ne kinkomyawo (kyana ekyo)
Njagala nkunaaze omukwano
Wenna baby otukule (ti ti ti ti)
Ssi bya nkukutu
Ebyaffe bya live namala okusoma ntwala

Both
Sika akati nkulembera babe nze tondeka
Ndi muzibe wo mu love
Ekyo kya kabi
Bwe nziba amaaso ziba amatu
Tube balwadde mu love
Kano akati ngoberera babe ssikuleka
Oli muzibe mu love
Ziba amatu bonna tobafaako ngoberera
Ndi wuwo nze mu love

Repeat Chorus to fade

Submit Corrections