Savaam Music
Andre on the Beat
Mugambe awuube akatambaala
Bw’agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw’agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw’agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw’agaana mukwate omuboggolere
(Bbo, bbo bbo, bbo)
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Towuubira mulala
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Wuuba wuuba wuuba wuuba
Bwe ntuuka mu kifo
Bazina bagamba Agent y’aliko
Tomweyimbamu mulabire wala
Muyoozi akuba ebigwo
Ziba nseko buba bukule
Olw’ebigambo by’alina entoko
Akukubira mu mazzi ku lukalu
Mu bbanga akulumba ne mu nsiko
Akayimba ko ka ddalu
Kati buuka nga gwe basaze embalu
Atasobola kubuuka gwe teweemenya
Kongojja nga kangaroo
Essanyu lite
Jaganya abamu ku ffe tebalina magulu
Ebizibu n’ennaku ffenna tubirina
Naye tetubyetimba ku ngulu
Ggya emitaafu mu kyenyi
Ba mudigize toba mulwanyi
Si kubye lingala
Naye nkuleetera okwenyoola ng’ekisanyi
Nga Elly Wamala bw’oba ojjukira
Nze ani yali ammanyi?
Gundi magaamaga Omuganda, Omusoga
Omukiga, Omunyankole gwe mugambe
Lugaflow Embassy
Nseeyeeya kuli ng’alina enkasi
Ssi bunkenke genocide y’Abahutu n’Abatutsi
Mpa paasi ngolole abalina amavuunya mu lyrics
Kabeepike mbawangule mu ggeyeena
Mu ggulu ne ku nsi
Bbugumu ne mu butiti
Nkuzinisa Bakisimba, Muwogola
Bulamu bw’ensi buba ng’emmotoka
Abulina kati vulumula
Ani akuba buli kigoma?
Sirika cce tobalabula
Atemaatema ebigambo oluusi
Asooka na bitwala mu lufula
Munsiime, bwe n’ajja
Nze n’ajja n’ekyange mu industry
Ba follower kati nabo bawera
Nafuuka factor tree
Kamulali nze chilli
Mu bino ebigoma nze referee
Nali nafuuka musirifu
Naye kati ebbugumu lingi
Yita akuliraanye mugambe
Yo! Mu Lugaflow (Mu Lugaflow)
Nze alina bbendera
Yo! Hmm! Togikwatako
D A to the G to the E N T