[Phone ringing, man clears throat]
Alo
Alo
Eeh
Hmmm
Eh hmmm
Eeh
Eh ha ha
Aah ha ha ha
Hmmm
Hmmmm
Hmmm
Hmmm
Ahaa!
Nange bwentyo
Bbaayi
Mwami njagala mbuuze akkubidde essimu y’ani oyo?
Sebbaale njagala ommatize akkubidde essimu y’ani oyo?
Olemeddwa n’okwatula by’oyogera n’owunnuuna ng’otya nze!
Wabula saategeera okufumbirwa malaaya ensajja
Lwaki ye ondaganga bw’oyenda taata Nalumansi mbuuza?
Ekiseera ndaba olina kinene gy’obeyukira mu town
Lwaki tonyumya ne b’oyagala n’olyoka olowooza odde eka?
Mpulidde akusaba n’ensimbi n’obuzaabuza ng’owuuna!
Nze mpulira n’obwongo buntabuse engeri gy’ogabanga essente
Nga nze mukazi wo mazima owomunju mbulwa n’akaleega ebbeere!
Sso nga gwe bakkubira kasimu oluzikusaba ng’otoola
Kati nno kaŋŋende nkaase
Ndabe amazima gy’owaaba
Nkooye okuwuliriza abakazi abakukubira mu nju wano
Akasimu kaŋŋende nkaase
Aba MTN be banaasasula
Nkooye okuwuliriza malaya ezikukubira ng’ozze wano
Bannange tulabye n’abazungu abaatuteerawo ako akasimu okutabula ensi
Sso nga bw’otunula kituyambako mu Africa okutumbuka
Naye nze ekizibu eky’amaanyi kye nengedde mu Uganda tukyali wansi
Amasimu ssigaana mwandigaleese nga musooseewo emisomo
Abafumbo nga ffe twandibaddeko we tukoma okutabukanga
Omusajja bw’akubirwa oba mukyala we wabulewo engozoobano
Kati mukyala njagala mbuuze ki ekivuddeko emberebezi okutabuka ennyo?
Wabula oswadde n’oyitiriza era nze nkusaasira
Oyogedde bingi nnyo n’ompita malaaya wabula oli mujoozi ate!
N’abaana baffe bano nga bawulira ebyo mukyala oli muzibu
Amasimu agankubirwa wandyesonyiye n’olekayo ogalumikanga
Eyiyo gye naggulira gy’oba ofaako eno eyange nsaba ogite
Kati omukazi kw’ovudde onandukireko oyo ye nnyabo ddala atuzaala
Ndowooza gwe nkwanye maama gundi otuuse okugwa eddalu
Essimu yange nkusaba ogyesonyiwe
Ejja kkuzaalira emiteeru
Y’ensonga lwaki n’aggulira n’oba n’eyiyo eyo gy’olina okuzannyisanga
Essimu yange nkusaba ogyesonyiwe
Ojja okunkoza ebitajja
Oba nga kyakutisse kya kwasa yasa eyiyo eno eyange otawaanya yaaki?
Bulijjo nnoonyereza olumbe olumaze emmere ng’oli awo?
Akasimu kaŋŋende nkaase awo onzitirewo bakutende
Tewekazanga bwegubanga gukusinze kkiriza
Nze awulidde eddoboozi lya malaaya
Onfoolinga otya nti ye maama?
N’amalala g’obadde oyogeza gongera ekituufu okkiraga
Engeri gy’onyumya n’abakazi ku muzadde wo kya njawulo
Ye eyange bukyanga ogingulira ani agikubako nga musajja?
Ye ojja otya ng’osunda obuwale ennamba ne nzikiriza ogikuwa?
Obwo buba bwenzi era simanyiirwa nze basajja
Naye mmwe ba malaaya b’ekibuga essimu mwazifuula enkwanso
Ennamba zammwe tuzisanga n’olumu mu ttooyi
Zaafuuka bbulooka z’abakazi ezibayambako mu kwana
Kati eyiyo kaŋŋende ngyase
Ndaba amazima gy’owaaba
Nkooye okuwuliriza abakazi abakukubira mu nju wano
Akasimu kaŋŋende nkaase
Aba MTN be banaasasula
Nkooye okuwuliriza malaya ezikukubira ng’ozze wano
[Phone ringing]
Hullo
Hmm ye ssebo
Ye ssebo
Ha ha ha ha
Kyokka gwe
Uh, mukale
Kale
Bbaayi gwe
Hahaha
Nga sinnaba kukutema lubale
Njagala mmanye akukubidde oyo abadde ani?
Era n’ensonga njagala ogiwe kw’ovudde okunyumirwa
Obwedda engeri gye weeyogeza
Kindagiddewo nti mukyala olina omulenzi
Wabula ekigudde wano kigwana poliisi enonebwe etuyambeko
Ŋŋenda okukuwaata emiggo
Mazima mukyala nkuloge ddala obujoozi
Bulijjo baŋŋamba nti nno oli malaaya nga nze nkuwakanira
Nange essimu yo kaŋŋende ngibetente
Y’ereese obujoozi mu nju
Wano weegaanye okunyumya n’abaami
Ate akukubidde gw’oba oŋŋamba abadde ani?
Ŋŋambye kaŋŋende ngibetente
Ndabe obuyinza gye wabuggya
N’otuuka n’okugabanga amasimu mu basajja bo
Musobolenga okunyumyanga
Leero luno!
Kiba kibi okutandika olutalo n’oluwunzika ng’owoloma
Mwami wange nkusaba mukwano onsonyiwe
Bannange ebintu by’amasimu bizibu mu butuufu obimanya
Eyiyo kansooke ngikuddize ndikomezza nze efujjo
Era nkikomezza okulumika amasimu agakukubirwa ng’oli wano
Amasimu gatabula obwongo k’ogesibako ng’ofudde
Ate essimu ssi y’eba eyenda abeera nnyiniyo nga mukyamu
Nze kati omusajja gw’oŋŋamba abadde kojja wange oyo
Lwe twali mu lumbe, namba y’esiimu kwegimuwa
Ndowooza bulijjo kye gamba okyerabiddeko
Eky’amasimu ogesonyiwanga
Amasimu mangu nga muli bateefu mpaawo apakunkana
Naye okwo okulumika amasimu
Abaami n’abakyala mukome okukyemanyiiza
Obufumbo bwammwe bujjanga kuyuuga oluusi okusaanawo
Essimu eba ya nnyiniyo ne bw’evugira awo togeza ogireceivinga
Ebyo by’ebyange kwata essimu yiino ogende ofumbe
(Weebale butagyasa muzeeyi)
Naye nga kye gamba njagala okomye eky’amasimu ogalumikanga
(Mpulidde ky’oyogedde doctor)
Essimu yange njagala ebe yange n’eyiyo ebeere yiyo
(Ekyo ky’oyogedde kituufu)
Naye nga kye gamba njagala okomye eky’amasimu ogalumikanga
(Mpulidde ky’oyogedde muzeeyi)
Essimu yange njagala ebe yange n’eyiyo ebeere yiyo
(Ekyo ky’oyogedde kituufu)
Ky’ekyo kye ggambye njagala okomye eky’amasimu ogalumikanga
(Mpulidde ky’oyogedde mukwano)
Essimu yange njagala ebe yange n’eyiyo ebeere yiyo
(Ekyo ky’oyogedde kituufu)