Akanyoomonyoomo, he!
Bwotaakomye kanyoomonyoomo ako!

Hmmm oli akeera n’afa siriimu
Abazze okusuza basula beeweeweeta
Kwalibadde okutya obwenzi bantu bagumu!
Wadde oli afudde azaala
Tekirobera bafuna mbuto awo nkeera
Mmotoka eyasse abantu
Olukanikwa bakeera kugiyaayaanira
Bantu tebayigira mu nsobi, eeh!
Ekintu nkituddemu butebe
Ndawula kye yatuula e Kyebando
Ow’ekikye talikyerabira
Ne Walumbe teyeerabira mukadde
Mbatumidde mwenna ababoggola n’ensi n’esirika
Emirembe gino ngalo
Emirembe gino ngalo
Ekiwola bakikwasa ngalo
Osisinkana eddiba ly’engo balyesibye
Nga n’Amaganda batyabula
Antegedde kubira Mukama engalo
Buyisebwomu abikwa nsega
Ekidongo nkiweese ku bbega
Abaganteze mwebale wamma
Ŋamba agatawunyirwa vvumbe

Omanyi buli lwonyiga ennyindo
Owunzika ogireese omusaayi
N’olemwa okwawula okusirika n’okkusiriikirira
Wansanga n’ekimotoka ekikadde
Kyokka neeyazika kati ggadi
Ku bibiri kuliko ekimu
Okunnunula oba okunsuula
Wajja tolina wadde olupanka
Ozimbye zi kalina ovuga kapyata
Wanunula nze oba weenunula?

Kye neekakasa tekabula musombi
Otangwa mpiira ozunga na muliro
Enkuba ya wano awo w’eva
Gwe n’okeera kwanika mmwanyi
Kankunyumize oseke
Oba oyagadde oyige
Ku busuubuzi bw’abaddu
Ekyaviirako emmeeri n’ebbira
Tovaawo kanzije
Nsumulula bw’osuna
Ate ebiyiika by’oyoya?
Wabula netyako butaggwesa

Gwali mululu na kanyoomonyoomo
Nti abaddu banaakola ki?
Emmeeri ne bagikoona
N’eyingiza amazzi n’ebbira
Gwali mululu na kanyoomonyoomo
Abaddu ne bawummula emmeeri
Bwe yali ng’ekkirira
N’abomululu bakkiramu

Waaliwo obusuubuzi bw’abaddu, edda ennyo
Ng’era babatikka mu mmeeri
Bagende okutundibwa
Tobuuza byali bya maanyi
Ng’okuwalira ofiirawo
Tomanyi gy’olaga na kyolagako
Baali nga mbuzi mwana gwe
Batuula eno wansi
Ate ku mmeeri waggulu eri
Y’ewatuula baguuda
Abatwala abaddu okutundibwa
Bali waggulu ababede
Ku myenge n’agafi g’enkoko
Basikambula bazza kuli
Eno aba wansi balaajana okufa
Bakka okulaba abawoggana
Ng’ekibaleekaanya njala
Kko bbo olunaku ebula lumu tutuuke
Mutuggyeeko akajanja!
Kye baava bassa kimu abaddu
Nti kwo okufa twawedde
Naye abatummye ak’okulya
Tugenda nabo e magombe

Batunyiizizza
Batunyoomye nnyo
Batutyobodde nnyo
Katutaase eggwanga erinaddako
Kwe kufuna ennyondo emisumaali
Emmeeri ne bagikonkona
Era akaseera mpaawe kaaga
N’eyingiza amazzi n’ebbira
Abaali bagenda okutunda abaddu
N’abagenda okutundibwa
Mmeeri bwe yazitowa n’ebbira
Ku bonna tekwali muwanguzi
Kale eddagala lyali lyangu
Kubawaayo ku k’okulya
Aba waggulu bwe beegeziwaza
Aba wansi eno ne bayiiya
Ampuliriza okayizeemu ki, akanyoomonyoomo?
K’abe omukozi ow’awaka
Kyangu nnyo okukuwa emmimbiri
Awava okugulu wadda muggo
Ssiibe mulungi omu
Alina y’ayongerwako omulambo tegubulwa tulo
Siggya kusukka nnyo ate awo
Ka nfune ez’e Kyengera
Awangaale omwana wa Muteesa
Lukoma Nantawetwa

Gwali mululu na kanyoomonyoomo
Nti abaddu banaakola ki?
Emmeeri ne bagikoona
N’eyingiza amazzi n’ebbira

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *