Akaffe Cce Lyrics – Rema Namakula

Nessim Pan Production

Omanyi buli kimu kyabala mu nze
Lino ttaka gimu kw’osiga
Nabala amatooke ndiko n’amayuuni
Ndi musiri gwa ffene n’emboga
Nze maama y’ansimba n’omuddo n’akoola
Kati buli kimu kyabala
Yansunsula amatabi n’obukoola
Ebigimusa nabyo byanoga
Yafukirira bulungi ng’ekyeya kisusse
Akasana, kaleme okunjokya
Yankuza, natuuka okumulisa
Nga buli kissaako kiri mu birimba

Nina bingi byotonalaba
Era bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najjula
Akaffe cce (aah)
Nina bingi byotonalaba (gwe)
Era bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najjula
Akaffe cce

Nkirako okuli akajaaja
Ka chai akawoomu akasinga
Akakuggyamu akawewo nkubikkenga
Nze maama yannyonsa bulungi
Buli kitundu ku nze kiri mu kifo kyakyo
Nalukibwa kalannamye
Ssansa ku bugoogwa
Luwombo lw’enkoko lwagalwa
Naye tonywerangako byotonywa
Otunulanga ku nze honey
Stress etere egende
Nawulirako ku ba kawoomera
Ku nze kw’olikoma n’owola
Ndikubikka love ebikunta obisibe mu kaveera (hehe)

Nina bingi byotonalaba
Era bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najjula
Akaffe cce (aah)
Nina bingi byotonalaba (gwe)
Era bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najjula
Akaffe cce

Nina bingi byotonalaba
Bingi ebyekwese munda eno
Nze eka bantendeka najjula
Akaffe cce

Submit Corrections