Abaami mwanguwe ndeese ekijjulo kati
Nsabye mumpangise amatu ntuuse eby’okuwa mbega
Bafumbo n’abasuubira okufumbirwa edda
Kano akaboozi k’amaka akasalwa asaabala nnaku
Ebizimba amaka mbalaba muyita bbali
Munonooza ebitayamba bukya mukungula zero
Osaana ojjukire munno ekyamukwagaza
Kubanga kiba kigumu ebipya bizuulibwa mpola
Balirira munno oleme omutikkira embuto
Kuba zikandula ssebo kamube nga mubirya mu nnusu
Muleke ayogere naye ebiba bimuluma
Leka mufuula kasiru kuba omupiika zi money
Muleke agende akole ziyamba babiri
Ne Mungu by’ageraagera olumu bigangwa basiru
Eby’okukwanibwa ssebo gubeera mutima
Kirya atabadde n’oweeka ky’ekimukima

Munno bw’akuyita oyanguwa ssebo
Kuba abamwetaaga baba kikemo
Laba gwe bw’omuyisa ng’atamwagala
Ate abamwetaaga n’obalemesa
Kyotaalye lekera abalala ne balya
Wambwa ssente aziraga kabina aaaha

Ekitiibwa ky’amaka okimaze ogabira ba kkubo
Walumbe gw’osoomooza naye akutadde ku mmunye
Mukyala wo eka n’alinda sweet mutima
Oli mu bwana bw’abandi ofuuse lutalo
Wayise mu bwerenga obwokumakubo
School fees z’abaana olya binnonoggo
Ng’eno bw’owoza nnusu egaanye kambe Mukama
Ssizikuwaayo n’akawago ne nkatoniya
Ekikkoza ensobi otuuke oleege n’empale
Kiriggwaawo n’endabada n’ekulebera
Bwe bulikya omwana w’abandi afuuse munaku
Wamufuula machine y’abaana ali mu maziga
Ssi mmere ssi ssabuuni kazibe ngoye
Ky’oliisa wakikweka eyo mu mpalewale
Weefudde wa kabi mu loogi mwana wa ssebo
Kale obusungu bwa Mukama bulikulaba
Ekinnuma okufa nali ndowooza bya kito
Naye obwenzi obw’ekikulu bwennyininyini
Nno ddayo eka munnange osange Babirye
Kuba omukwano ogw’ensimbi agwagala ssebo

Munno bw’akuyita oyanguwa ssebo
Kuba abamwetaaga baba kikemo
Laba gwe bw’omuyisa ng’atamwagala
Ate abamwetaaga n’obalemesa
Kyotaalye lekera abalala ne balya
Wambwa ssente aziraga kabina aaaha

Katonda bw’akuwa ekirabo n’okidibaga
Ne bw’olitambula ensi eno okwata wabbali
Saagala olowooze nti ofiirwa kinene
Bw’otuulako awaka omukyala n’abudaabuda
Atamanyi mukwano anti era asuna bbali
Bwebwo obukwano bw’onoonya anti quarter kilo
Binaakuwonya n’endwadde ezoomubukaba
Bukakkamu mu bintu bino ebyo mumasanyu
Kitta akimanyidde ennyanja yatta muvubi
Guluma yaguzza enziku ereka okumpi n’eruma ewala!

Munno bw’akuyita oyanguwa ssebo
Kuba abamwetaaga baba kikemo
Laba gwe bw’omuyisa ng’atamwagala
Ate abamwetaaga n’obalemesa
Kyotaalye lekera abalala ne balya
Wambwa ssente aziraga kabina aaaha

Emboozi bw’etabye obunyuvu baana ba ssebo
N’ate tulandazzeemu naye nsaba tuginnyuke
Mbakuutira nga bwe mbasiibula abanjagala
Nti eby’okulwanira mu mukwano bwavu bwa mpisa
Toboggola ssebo nno teesa mu mpolampola
Kwe kuwaŋŋana ekitiibwa kiba kikulu
Tebittottolwa oba bya nnaku tebyogerwa
Buli omu n’ebibye ebizibu munnyo gwa nsi
Tokola mululu kino kiswaza ba ssebo
Tolingiza ntamu ekyo kiraga bwe wakula
Ssanyu ly’amaka nga waliwo okuteesa
Kuba ensobi eyazeewala yafiira mu lubuto ekyo kimanye

Munno bw’akuyita oyanguwa ssebo
Kuba abamwetaaga baba kikemo
Laba gwe bw’omuyisa ng’atamwagala
Ate abamwetaaga n’obalemesa
Kyotaalye lekera abalala ne balya
Wambwa ssente aziraga kabina aaaha x 2

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *