Maama agawalaggana mu nkoola
Bwetuliba tutudde tuligazimbira obusiisira
Bannange mbonaabona lwaki nti nebuuza?
Baligidde mbonyabonya ani?
Waliwo ebintu ebinnyiga ebimpimpi
Bye njagala njatule nfune ne ku bannyamba
Kubanga bwe nteebereza okusirika bannange
Ssikulwa nga nzikirira ekimugunyu
Ekisooka nkyogeza luggumuggumu
Be bakulu bange abo baafa muddiriŋŋanwa
Ng’ate be bandibadde batuwagira mu nsonga zaffe
Mpozzi n’okuwabula ekika
Ate nga bwe nzijukira emyaka giba mitono
Ku baali abakasukka obuvubuka
N’enju okuleka guloofa ewedde ate nga mpya
Ssemakula yafiira ku ggwanga
Luyombya mbuusabuusa bwentyo nti oba yaziikibwa
Eyambikira yamanya kya kufa kwe era kye yantegeeza
Nze kaakati njogeza lusajjasajja
N’endongo ngikuba lwa kusaggulanga kyakulya
Baligidde namulabako mu Ndeeba bwe twawayanga
Mpozzi bwe bugambo obusembayo
Mulamu yamuziikayo lwa buwaze n’abaana baffe
Sso nga wano mu Bulemeezi e Mulira we yabeeranga
Kaakati tuli mu bbanja kumuggyayo
N’owe Kenya tulimuteesaako bwe tuliba tutudde
Mmwe ab’ekika njagala muwulirize ekirango kyange
Ng’era njagala tukuŋaane
Ffe abasigaddewo njagala twemanye omuwendo gwaffe
Ddala tusaana tudduukirire omusaayi gwaffe
Bannange tulima tukwanya
Waliwo ebintu by’ekika bingi nnyo ebitufuukidde
Sso gwe musingi gw’abalisigala
Ebyabyo tukimanya byayokebwa
N’ebyali bibanja kaakati no byegasse
Bannaffe abaabiriko baalokoka eky’ennaku abamu
Kko n’okulamaga e zzirakumwa
Ba kitaffe tusigazzaawo babale tubeesige
Balituwabula mu biddiriŋŋana
Ba ssenga tulibuuza Najjuma, Nalweyiso
Kubanga be bakubiriza ba ffenna okuva edda lyonna
Alikkiriza alitweyuna yonna gye tuliba tukuŋaanidde
Ye abange ndaba kuki mmwe abazze baganda bange
Mu myoyo njagala ntabagana bwe tuba tuteesa
Bannange tulima tukwanya
Kati mmwe mulowooza ki ku musaayi gwaffe?
Nze bwe mbanyumiza ebifa ewange
Kati bizuukusa jjembe litaamye
Mu kwebaka ngugumuka mu birooto
Ate omwana alogootana misambwa mbu gimutta
Nze ndoota maliba ga ntulege oluusi ga ngo
Oba okusumikibwa obwo obubugo
Wulira bwe nvugirirwa obwo obugoma
N’engalabi ng’evuga n’ewerekerwa ezo ensaasi
Nkugambye ne nfuna ekiseera ekizibu ssikyefuga
Ddaaki ne nninnyirira ogwo omuliro
N’omwana alogotaana bw’agwawo ekiro
Nkugambye n’asaba muto we enkanamu
Mukiibi n’ajja n’oluyimba oluzito
Mbu enkerebwe nku lwesima ng’eggalira
Kyokka akanyoomonyoomo ako
Bwe ndimutta ndikwata mulala na munyanyimbe
Mbakuutira bwenti
Lubaale yeeyogerera talimbwa
Ne bwe baba abalongo n’emizimu n’emisambwa
Byonna n’amayembe
Mwenna ngalo ngalo abakyala mwebale
Abaami ngalongalo n’abaana mwebale
Agawalaggana mu nkoola
Bwetuliba tutudde tuligazimbira obusiisira
Agawalaggana mu nkoola
Bwetuliba tutudde tuligazimbira embuga yaago
Bannange mbonaabona lwaki ntyo neebuuza
Ye kiki ekyo ekituwemmenta?
N’abaana okufunda ku nazaala tebayiga nnyo
Ng’ababalala bakoona diguli
Emirimu tufunda ku nanoonya nti gyabula
N’oluusi kusiiba ku nguudo
Emmotoka tulinnya za bannaffe nti baamala
N’eggaali Basitiiri okulema
Abakazi batandise twesamba
N’oluusi empewo ennyingi okuzingiza oyo nnyinimu
Oba jjembe njagala lituyitemu nga tutudde
Oba lubaale njagala yerobozeemu
Kubanga eyo omusajja gy’ali eyo atafeenya
Era nga gwe mmanyi omusajja emmekete
Kubanga y’adduukirira abo abawabye
N’okufulula abo abalogo
Wamma gwe oli kitalo nkutenda
Gwe wamponya naganga tofeenya
Wabula ondabiranga Walusimbi
Omukono waguwonya kati olutamba ntakula
Guitar eno njagala kubanga
Bwe ngiyita naddamula nayo eddamu
‘Nti tuliba tutudde’
Agawalaggana mu nkoola
Tuligazimbira obusiisira
Naye kati empologoma ekaaba
Bannange empologoma ebuga
Yiiyo anti empologoma ensajja
Muguviire ogwo omwana gw’e Ntare
Aligyeŋaanga alibeera w’ebweru
Kirimuggwa alyeyitira mpite
Bw’erijja aligenda ky’ennyumannyuma nga talaba
Ebigere alisuula mu nnyanga
This is great thanks for the Great word done