Hmmm JJ
Oooh
Brian JJ

Katonda addira
Amaziga n’agafuula oluyimba
Addira, omwavu n’amufuula omugagga
Olaba addira
Mu nnyanja n’atutemeramu ekkubo
Byewuunyisa by’akola era bizibu okutegeera
Katonda addira
Amagumba n’agazzaako ennyama
Addira, eddungu n’atonnyesaamu enkuba
Olaba addira
Omusaayi n’agukamulamu entuuyo
Byewuunyisa by’akola era bizibu okutegeera
Byewuunyisa Katonda by’akola
Weewunyisa Namugereka tewenkanika, aaah aah

Oli Katonda w’essanyu, yeah
Katonda atuwa obulamu, eeh
Oli Katonda w’enjuba, ooh
Katonda atonnyesa enkuba, aah

Katonda addira
Ba mulekwa n’abafuula abaana
Addira ekikolimo n’akifuula omukisa
Olaba addira ba kasiru n’aboogeza, ennimi
Byewuunyisa by’akola era bizibu okutegeera
Katonda y’amanyi bw’atuwanirira netutagwa
Omuyaga guzze, y’amanyi bw’atutambuliza ku mazzi
Olaba addira
Omuntu eyeebase n’amunyumiza emboozi, ooh oh
Mukama munnange byonna obikira
Katonda eddoboozi lyo libwatuka nga laddu, aah
Olina amaanyi owanirira ensi, mu mukono gwo

Oli Katonda w’essanyu, yeah
Katonda atuwa obulamu, eeh
Oli Katonda w’enjuba, ooh
Katonda atonnyesa enkuba, aah

Myco Holy
Producer Brian

Ssi ffe Mukama naye erinnya lyo
Eryo erinnya lyo
Ekitiibwa n’ettendo kibeere
Olw’ekitiibwa kyo
N’olwekisa kyo tubeerawo
Ffe tuli baana bo
Abakwesiga yegwe atubudamya
Ne bwekuba kulya
Yegwe atuwa emmere ey’okulya
Oli makerenda ag’omusujja ogutintimya
Ne bwe kaba kale
Nga kakutte yeggwe agitonnyesa
Ndabirawa, nze okubeera omwana wo
Ndaba ku ki, nze okutondwa mu kifaananyi kyo
Neeyanzizza, aah ah ah

Oli Katonda w’essanyu, yeah
Katonda atuwa obulamu, eeh
Oli Katonda w’enjuba, ooh
Katonda atonnyesa enkuba, aah

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *