Above (Wala) Lyrics – Jamie Culture

Jamie Culture Moderation
Genius God pon dis is one deh
Praise the most high Jah
Oh uuh
Yeah
Oli wala, oli wala
Sing Jah pon the rock

Osinzibwenga nnyini ggulu
By’oyagala bikolebwe ku nsi
Ne bw’otyo mu guulu
Otuwe emmere eya buli lunaku
Ssi leero lwokka
Yeggwe ali waggulu wa buli kitonde
Emabega w’olugero lwa buli kutondebwa
Nange ndi mw’ebyo ebitonde
Bye watonda okusinza, ate
Thy be your name
Lets your Kingdom come
Ngyawulira abalungi ongyawuliremu abakyaamu
Mbeere nga nsaanira ku Namulondo yo
Nze bingi ebinnyiinga gwe awo obiyinza
Ebingi ebizitowa gwe bikuwewukira
Emisango gyange ewuwo gye ndoopa
Katonda wange, byonna obisinga

Byonna ebisinzibwa obisingira wala (wala)
Kababe basawo obasingira wala (wala)
Anoonya obulamu talina kukwewala (wala)
Yegwe above yegwe ow’ewala (wala)
Ebyo ebisinzibwa obisingira wala (wala)
Kababe basawo obasingira wala (wala)
Anoonya obulamu talina kukwewala (wala)
Yegwe above yegwe ow’ewala (wala)

Kale nze nnyimba ntya ne ssiyimba linnya lyo?
Gwe agulumidde eyo waggulu ennyo
Waggulu ennyo, gy’oyasiza emunyeenye
N’oddira ekitangaala n’okinaanika enjuba
Buli wendi nze mmanyi ondaba gabirira nnyo
Nfukirira emikisa ng’enkuba
Nga bw’ofukirira ebitonde ne bikula
Ekiyenje kyange kiwa omukisa mpangule nga
Beera ekitala eri ebizibu byange
Beera ekitala eri abalabe bange
Beera ekiddibwamu ku ebyo ebinnemye
Katonda wange

Thy be your name
Lets your Kingdom come
By’oyagala bikolebwe ku nsi
Ne bw’otyo mu guulu
Otuwe emmere eya buli lunaku
Ssi leero lwokka
I say, byonna ebisinzibwa obisinga
N’abasawo ab’ekitalo nabo obasinga (obasinga)
Ne ba Kakensa bebuuza ku gwe
Nga waliwo ekibalemye
Oli wala, wala

Byonna ebisinzibwa obisingira wala (wala)
Kababe basawo obasingira wala (wala)
Anoonya obulamu talina kukwewala (wala)
Yegwe above yegwe ow’ewala (wala)
Byonna ebisinzibwa obisingira wala (wala)
Kababe basawo obasingira wala (wala)
Anoonya obulamu talina kukwewala (wala)
Yegwe above yegwe ow’ewala (wala)

Mighty Son deh
Uh uh!

Waliwo nze bye siyinza
Bwendi omubiri, nga gwe oli mwoyo
Yamba amaziga agakulukuta ag’abaana abato
Kino njala, ndwadde
Ebiruma stress ebizibu bingi
Mpisiza omukono gwo, gabirira
Kuba oli waggulu nnyo nnyo nnyo

Byonna ebisinzibwa obisingira wala (wala)
Buli kimu okiraba
Kababe basawo obasingira wala (wala)
Anoonya obulamu talina kukwewala (wala)
Yegwe above yegwe ow’ewala (wala)
Ebyo ebisinzibwa obisingira wala (wala)
Kababe basawo obasingira wala (wala)
Anoonya obulamu talina kukwewala (wala)
Yegwe above yegwe ow’ewala (wala)

I call on, your blessed love
I call on your grace upon us
I call on your blessing forever
You give us wisdom Lord
Mponya ebirwadde
You’re most high Jah
The Above

Submit Corrections