Ababadde banninda mukke emyoyo
Mwannyina omulungi nzuuno nazze dda
Eriyo abakungubaga bwe nsaanukula
Anti ntera okuvaamu nze oluusi ebyokya
Luno naleese bipya bya kwezigula
Nga mpulira ennaku abawala mumpemudde
Mukube ne reverse tudde emabega
Ekkubo twalireka omwali eby’obugagga
Kati nsaba mbavuge mbaggye awazibu
Muwala tongaya kuba nzize kutaasa
Mpulira ennaku gwe bw’oba ojeregwa
Alina ne zzaabu bwetyo ey’omuwendo
Katonda gye yakuwa odaaze abalala
Laba ate bw’ogifuula mwattu omutali nsa
N’osena ne jaribu osiimwe abaguzi
Mube ng’eccupa ya bbiya ndabe ate anaabasumbuwa

Olugero nsibambi bw’olwesigama
Lujja kuwonya enkonge embi ennyo ez’akabaate
Naye bw’onaasiba mutere ng’olwebalama
Be bano b’osanga amatu agaweddeko empe
Mbeeyitira na bakimpe nkyekubire
Buli amugambyeko mmange n’agoberera
Buli omu azannyira ku gwe nga kitalo
Ng’ate n’abakwagadde teri akuwa kitiibwa
Oba ogoba bya kufuna byonna mpaawo
Eyemansamansa atyo ani akuwa dinari?
Ojja kufuuka mboozi owoomye omwenge
Ate nga n’akwagadde oluusi obutakuddira
Bw’oba oba wa njawulo singa osussa
Gw’atagumira kw’omu ndabaamu ngya kukkusa

Ngya kuva mu mbeera nnyombe buyombi
Abayiwaayiwa zzaabu era mmwe munsokoola
Ne Katonda eyabatonda abeewunya
Abantu be yakeera enkya n’awa eky’obugagga
Kati ffe tukirinnyirira kyonna ebitaka
Alinga eyaddira ssente ennyingi n’aziwa ente
Kati tuwenja bugagga obw’entuuyo
Omuntu eyaalitudde waali omwami n’alowooza
Bangi bannyulula gw’oba omugaya
Abakazi ndabye bangi nnyo nnyo baanunudde
Nga ye mu kifo ky’okukola akke entuuyo
Ng’omukyala akeera nkya kwezigula face
Mmwe abawoza ndi bulungi neekolera
Nga baakusimbye naye maama tomugyamu
Mmwe abalala ekibalemesa ssi kirala
Y’entandika y’omukwano n’oyo gw’oyagadde
Oli ne bw’akwana ng’asaagilira
Naye omuwa ettu lya zzaabu omwami n’asumulula
Mmwe muleeta n’abasajja okwematira
Nze kyenva nkugira owange ansiimye ne musattiza

Waliwo be nkeneka ba Nantumbwe
Nga bw’omubuuza ky’afunye mu bbeere amira mukka
Ng’asunda okkamala buli omu amugasa
N’anoonya okusunga bambi naatamwawula
Bakyalakimpadde mubeekuumenga
Bebatubbira zzaabu ate enkya n’ageya gwe
Akuyita muwala jangu tunywemu
Olukwokya eccupa ya bbiya omukyala n’olannama
Nze ngiyita na nkwana mbi ey’ejjoogo
Kyenva nkwekkaanya mu byonna nga ssineebuga
Bangi nnyo abeefuula ab’ekitalo
N’anoonya entwere maama n’akwebera
Mwemuli n’abasuubiza ebya njwanjwa
Nti ngya kugulira Benz sso eka asula n’enjala
Ng’atokota ebigambo bye nga lusanvu
Ng’olwo ky’agoba kufuna ate enkya ajje akwanike
Ofuuse wa bonna buli omu akunyumya
Buli akugambako toyisa ye ng’olabye n’ekisa

Kye nsembyayo nga nfundikira
Nga ndabula abawala abakyali abato mmwe
Kwekufuba okulaba ng’osengejja
Eky’obugagga kyo kikwase ataakinnyike
Ate okikwase omu lw’ojja oganja
Lw’ofuna n’ekitiibwa kw’oyo gw’oyagadde
Saagala munnange ofuuke kayoola
Okwagala abangi kibi nnyo kikufiiriza
Gwe komya okugondera buli omu akwana
Abasinga obungi ekiwuka kibalidde
Okuume zzaabu wo kafuuke akalira
Olyoke ofune ebirungi by’osuubira
Mmwe ababadde bemansa mwenna mbasaba
Tufune kalantiini ekuuma eky’obugagga
Tusooke twerese tudaaze abaguzi
Ebbeeyi bw’eriba erinnye ndidda ne mbawa ennamula

Submit Corrections

Leave a comment