Olwaleero olunaku ninga omukube nnyongobera!
Mpulira n’ebisulo ebinsoya sirwala essujja!
Ye ki sirwale nga tulya bubi ffe amazima!
Buno obufumbo bw’ekyavu oba ng’eyagwa mu mpompogoma
Nkooye nze amaluma n’okulya omunyeebwa ogunyiwa
Y’aliwa ampeereza emmere ngye mpaate?
Ndeetera n’akatebe ntuuleko kitammwe akomawo
Leero y’aŋŋambye ajja tugulira mbu empuuta
Naye kaageza akomawo nga tagiguze nze ntabuka
Laba naye atuuse mutikkule kitammwe empuuta
Wabula munaffe tweyanzizza ssaalongo
Mukene gw’azze awuuba!

Mukene gw’aleese?
Empuuta gyataguze?
Ssebo mukene gw’oleese?
Empuuta gyotoguze?
Ndowooza bw’ondaba olaba ng’eyawasa ekikekenke
Ssebo mukene gw’oleese?
Empuuta gyotoguze?
Wamma Nabbaale mumuwe kkapa oyo mukene
Tujja kuyenga omunnyo

Wamma mwana wange tomuwa kkapa
Oyo nnyoko ali mu lwali
Mukene tomuwa ppusi
Ojja kuleeta ebisiraani
Amaka mangi we njogerera
Nga gadaagira mukene oyo
Kati gwe amufunye tofunye nsonyi
Na kwebuuza gye muggye wa?
Nabasuubizza okubagulira nze empuuta
Mbuuza kyazze kitya ate mbaleetere obwo obuntu
Mazima abasajja tulina ennaku
Ey’okunoonya ssente
Olwaleero nsiibye ŋŋumbye
Ku Marvin Hotel
Nga ninda Marvin akomewo ansasule
Nze mmuzimbira kalina ezo
Ppaka lw’akubye essimu
Nga yagenze mu America
Kyokka n’ansaba olunaaba okudda ng’ansasula
Era ntambuzza ebigere
Okuva e Nateete ne ntuuka wano
N’oyo mukene mmwewoze nnyabo
Ewa mukyala Namata
Mulinde Marvin akomewo mbapiike empuuta
Wabula Sebbaale nenyiye okkola
Buli kalimu ke nkwata temuva kalungi amazima
Ndabye n’ekisiraani yiii!

Tewali kinnuma nga muntu ammatiza ng’annimba
Kati onnyumiza Marvin tukube amabeere mmuliro?
Ye nga ku Marvin Hotel ng’ani yakuwaayo omulimu?
Tonnyumizanga nze ebyo ebiboozi byo bintabula
Wabula munaffe tweyanzizza nnyo empuuta
Ate oguze nnyingi mbadde nkimanyi oleeta emu!
Bwe gaba maddu ssebo otutereezezza emyoyo
Naye oba baakuloga njagala Fred okumanya?
Wabula kye nzudde eyo olina abakyala abalala
Abo bwe mulya amasavu n’ojja okomawo ng’opiiya
Gw’akaaba obwavu kyokka nootokogga wabaaki?

Kati mukene gw’oleese?
Empuuta gyotoguze?
Kampaate emmere mmale ndabe plan esinga
Ssebo mukene gw’oleese?
Empuuta gyotoguze?
Ffe katusitame obutama kasita gwe mwami ogejja
Wabula ŋŋenda bisiba!

Mukyala eky’obunene oba ng’alimba
Kyo bazaale kizaale
Abantu bangi nnyo abalina embuto
Ng’obwavu bubazunza
Sso nga n’abatono be ndabye nkumu
Nga bavundu ba ssente
Kati ekyo eky’obunene nkimenyeddewo ddala ddala
Ŋŋambye eky’obunene nkimenyeddewo ddala ddala
Nze nina ekintu kye navumbula
Sso naloota kiroote
Naye nga bwe nteebereza okukyatula
Nga kyandizaala akabasa
Naye k’omaze ongugumbula
Nange ŋŋenda kukyasa
Gw’oliko ekintu ekinnemya okukwata empiiya
Oliko ekintu ekinsibye mu bwavu amazima
Bwe ŋŋeza ne nkiggamba n’okiremerako ng’ogenda

Ogenda n’oggyayo entebe
Ng’obadde ogenda kuwaata
N’ositamira emmere
N’ogikuba ebisiraani
Eyo gy’ofumba n’onzijulira
Ŋŋende nnoonye ssente
Naazifuna ntya ng’ate ekisiraani nkiggya waka?
Gw’akunamira emmere, gw’ankuba ebisiraani
Kkomya okunamira emmere
Nfunenga ssente eeh

Wabula Sebbaale nkwewunyizza nze amazima!
Nga wewunya ki awo?
Obusirise obungi lumu bulikusuula awazibu
Nze natondebwa bwentyo
Nga tulumiddwa obwavu n’osirikira eyo ensonga!
Kasita tugenda zifuna
Ekitegeeza ne Marvin ggw’omukolera ssi kulimba?
Hmmm mmubanja ssente
Kati kankomye okusitama oba kwekuvaako obuzibu
N’empuuta ojja ginyiwa

Gw’obadde osibye ennusu
Ne nkoleranga mabanja
Mwenna abakazi abatufumbira
Ab’awaka n’abawooteeri
Mbasaba mutusaasire
Ffe abanoonya ssente
Mmwe abakunamira emmere
Mutukuba ebisiraani
Bwemuteeresa ntebe
Eyo emmere tugenda gizira
Y’eyo ensonga gye ndese enkulu
Kuba naloota ndoote

Wabula Sebbaale nkwewunyizza nze amazima!
Nga wewunya ki awo?
Obusirise obungi lumu bulikusuula awazibu
Nze natondebwa bwentyo
Nga tulumiddwa obwavu n’osirikira eyo ensonga!
Kasita tugenda zifuna
Ekitegeeza ne Marvin ggw’omukolera ssi kulimba?
Hmmm mmubanja ssente
Kati kankomye okusitama oba kwekuvaako obuzibu
N’empuuta ojja ginyiwa

Wabula Sebbaale nkwewunyizza nze amazima!
Nga wewunya ki awo?
Obusirise obungi lumu bulikusuula awazibu
Nze natondebwa bwentyo
Nga tulumiddwa obwavu n’osirikira eyo ensonga!
Kasita tugenda zifuna
Ekitegeeza ne Marvin ggw’omukolera ssi kulimba?
Hmmm mmubanja ssente
Kati kankomye okusitama oba kwekuvaako obuzibu
N’empuuta ojja ginyiwa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *