Abasajja muzaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Nga bwenabalaganya nina okudda
Nantume abampagira siribasuula ndeese
Okuyimba kwawufu kusaanamu sense
N’osengejja buli lw’olaga nti oleeta
Siwanye Matendo okuva lwe yajja etuuza
Era ng’ematiza bye tulaga bya njawulo
Eno nno zivuga asitunkana kkalira
Byendeese anaabisubwa eriba nsobi yo si nze
Ekigambo kugatta tukiyite oba mix
Ky’ekikulu ekindeese okuva ewaka ewange
Ekigambo kugatta gwe kiyite oba mix
Ky’ekikulu ekindeese okuva ewaka ewange
Buli kimu era mix negyemuliira mmwe eyo
Mugatta ettooke kko n’akawunga oluusi
Ensonga ye Ken awoomerwa nnyo Bell
Ate nga Kanwagi yawoomerwa ebbeere
N’okuzaala bwekutyo nakwo kubeemu mix
Twawulenga emigoga n’ensujju mu ndabika
Muzaale nga mugatta abaliziyimba ennyimba
Mufune aba diguli n’abalivubanga ensonzi
Ensi ecankalanye kiteeso kyaffe bakyala
Tusaana tubale ebirituyamba mu maaso
Abakyala mwefuge ensonga basajja baffe
Tusaana tubaleke bazaaleko ebweru
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Kinyuma nnyo omwami ng’azaddeko eyo ebweru
Kimuwa obwongo n’okutegeka ennyo mu maaso
Era mmwe abasajja munywerere mu bisaawe
Ng’enkasi w’ogiraza okubengawo tooci
Waliwo lw’ozaala gwe n’obala nti mukaaga
Ng’enju mw’ozadde okuva ku jjajja bayizzi
Mbuulira bw’alikola nga kye yayiga kwandaaza
Kimanye n’omusaayi gugoberera nnyo ensibuko kikwate bweso
Gwe zaala otobeke kirikuwa enjawulo mu maaso eyo
Ono bwaba muzimbi oli kaavuge emmotoka
Justine Nantume ebyo byemulinnanganga
Era ow’ewange namuwadde ebbeetu
Nsaba nammwe era mukole nga nze
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Balo bw’azaala ebweru aba agaziya nfuna mu nju
Kimanye agasse musaayi ogw’omugezi ku mugagga
Mugira mmwe muŋŋoola kamukamu baalulaba
Okuzaala ebweru kigoba n’eminya mu nju
Ate emmese ensoosolima lw’azaala tezisulamu
Era mmwe abasajja munywerere mu bisaawe
Lw’ozannya akapiira ng’oteebayo ggoolo
Mwattu kiyamba n’okumanya ng’ozadde
N’omanya alikufaako n’alikuleka ng’ojeera
Kimanye buli mwana n’omukisa ng’azaalwa
Olaba kazibe nswa z’ezaawula mu ssaawa
Ate (era) gwe mukyala omuwaaneko nti yayiiya
So si buli ekookolima nti baakugambye ewakisa
Balo bw’azaala ebweru gwe n’olowooza omutta
Kiba tekikugasa nga nebewazaala malenge
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Kati kanfundikire nategedde nti mugenda
Naye entanda gyensibye mutobeke nga muzaala
Abakutte mwebale bwendidda mulyebaza
Lwendiba nkyusizza nga ndeeseeyo ebiggya
Abanyooma bye mbawa mulyejjusa mpummudde
Olugendo ndubase kanzireyo eno gyensula
Justine Nantume ebyo byemulinnanganga
Era mmwe abasajja temugeza kwenyooma
Bw’ozaalako ebbali ow’eka mubuulire
Ate gwe mukyala ofube nnyo okumwebaza
Era n’omusaba azaaleyo n’abalala
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba
Ky’ekyo bazaaleko ebweru
Kijune abomunju ng’abebweru bayiiya
Abasajja bazaaleko ebweru
Kikuyambe emiguya gyo ogigattamu emmamba