Eeh
Eeih eeih
Laba nayagala dda nkusisinkane
Nennoonyaako n’ewuwo nembulwa
Naye Mukama bw’akeesa
Munnange obukya buziba
Mukama Katonda akumpadde
Baŋŋamba w’oyita ssi wangu
Eyayina emirembe gyabula
Mbu osula okaaba teweebaka aah munnange
Munnange nkusaba tokaaba
Yadde ebikuluma bingi nnyo
Obulamu bukugezesa
Be wasuubira okuyamba tebaayamba
Abaali mikwano gyo baakyuka
Abooluganda lwo abo baakoowa
Omanyi abantu mu nsi eno bakyuka (yiii!)
Munno leero ye mulabe enkya
Nebyewalina byaggwawo byabula
Byo ebintu by’ensi eno bwebityo
Nze mmanyi omu Katonda y’atakyuka
Abange Katonda y’ataggwako
Bwoba olina Katonda olina byonna
Yadde abantu abo balungi
Naye tobeesiga
Bambi abantu abo balungi
Naye ssi beesigwa
Ne Katonda akyogera
Nti akolimiddwa eyeesiga omuntu
Ebintu by’ensi eno birungi
Naye tebibeerera
Bambi ebintu ebyo bw’obifuna
Tebikumalangamu ssebo
Olina kwesiga Katonda
Y’atagenda kukulekanga
Ssuubi lyo libenga mu Katonda
Y’atasobola kukuyiwanga
Kwo okukyawa tokyawanga
N’atakwagala mwagalenga
Tosobola kumalawo kibi na kibi
Bw’alumwa enjala muwenga alye
Bw’awejjawejja muwenga anywe
Bw’olikola otyo ng’olwo owangudde
Abakwagala Katonda yeebazibwe
Abatakwagala tebakulumya mutwe
Tosobola kuganja eri bonna
Totyanga bisukkulumye
Oyitanga Mukama atasingwa
Ka Dawudi Goliyaasi kaamukuba
Bw’olaba amazima togadduka
Yadde munnange gakaawa
Dduka mbiro ogasisinkane
Mwemulibeera emirembe gyo
Ta bu katonda obwo bukooya
Okomewo eri eyakkola
Vva mu kupapirira todduka
Olindeko Katonda wo
Jjukiranga eyakubumba
Okomewo omuweereze
Bw’oliba ng’okaddiye
Bambi ogenda kwejjusa
Tonoonyanga kusanyusa bantu
Mbu ofune empeera mu bbo
Fubanga mu buli ky’okola
Osanyuse omutonzi wo
Yadde abantu abo balungi
Naye tobeesiga
Bambi abantu abo balungi
Naye ssi beesigwa
Ne Katonda akyogera
Nti akolimiddwa eyeesiga omuntu
Ebintu by’ensi eno birungi
Naye tebibeerera
Bambi ebintu ebyo bw’obifuna
Tebikumalangamu ssebo
Olina kwesiga Katonda
Y’atagenda kukulekanga
Ssuubi lyo libenga mu Katonda
Y’atasobola kukuyiwanga