Mu bingi ebimpanjagirwa nnyambe eggwanga
Kansooke ngogole ku ky’obuzaale
Nzize okulumbagana abeeyita Abaganda
Ate nga temukyabutuusa
Bwe ŋŋenze nfuuza nnengere ekituufu
Twandiba nga twasigaza linnya!
Ky’ekiwadde n’ebbeetu buli omu ayagadde
Kati wa ddembe okweyita Omuganda
Bw’ogeza n’omuwakanya nako kabaate
Bw’ava awo abuuza bibuuzo
Nze omusajja yammerako jjuuzi ng’atubuuza
Nti Abaganda ekitwawula ki?
Nabulwa kye nziramu nnuŋŋamye omusajja!
N’ekivuddemu nkutte lutamba
Nga njagala okinzitire mmanye ekituufu
Naye ng’onziramu osaana kunywera
Otuwundire omuntu gw’oyita Omuganda
Gwetutajja kubuusa maaso
Abataka, Abataka
Kibuuzo kiikyo baana battu
Bw’oba oteredde bulungi
Kati nkulaga Omuganda omuggwe ennyalwe
Muntu mwagazi wa ggwanga
Ate nga yeewala nnyo okulityoboola
N’ekitiibwa takisuula
Ng’era afuba okulwanyisa buli kikyamu
Ekyaŋŋanga okkosa Obuganda
Ky’ekimukwesa n’enjala bw’oba omunyoomye
Sso ng’ate abeera mutaasa
Aba n’akasengejja mu kamwa akayonjo
Ne mu njogera ye aba muweweevu
Wewaawo sikigaana atera okunyiiga
Naye obusungu bwe tebumulwako
Wa kisa ku mutima bw’aba akusiimye
N’emikago atera okugitta
Alamula n’amatiza abali mu bukyamu
K’abeere wuwe nga gumusinze
Akuuma ebyama n’okuba omuteesa
N’obwesigwa ngabo emukuuma
Kati nno bannange mbasaba mbabuuze
Nti ani akyekuumira Obuganda?
Zibasanze ababadde beeyagala
Obbambula Obuganda mbuzze e Mmengo
Oyo alibeera abwetaaze alimala kutanga okubumuddiza
Ssaabataka ke mbimutuusaako
N’Abobusolya baakwefungiza
Nga mpaaba mu Lukiiko
Ngya mwanjulira ensonga n’ezifa e buziizi!
Ne mu maka ndi waakutuuka
Omuganda aba n’enfuga amaka egagonza
N’anywera ne bw’aba mwagye
Empisa ezigabeeramu gaba matendo
N’obugunjufu okuva mu baana
Gasembeza abagenyi awatali kuboola
Ne munnamawanga akyama bukyami
Ate n’olugenda enjala amanyi terudda
Ky’ava talera ngalo Omuganda
Akuuma olulimi lwe nga lwa kitiibwa
Talugatta mu ndala kukyama
We nsabira mbuuze ku ludda lwa ba taata
Nti ani akyatuusa bye njogedde?
Nga nkyalandiza Obuganda
Kati kye nkulazaako ky’ekyokwambala
Ng’era nsookera ku mwami nkulage
Ekimwawula ku ggwanga eddala
N’okumuweesa ku kitiibwa
Mwambazi wa kkanzu ennungi ey’omuleera
N’ekizibaawo kye takisuula
N’endala ezitalaga bifo bikyamu
Ezimusaana okuva ku myaka
Ne bw’ayitwa ku mikolo aba wa muwendo
Kabube buko tebamusunga
Naye kati okusanga eyeeyita Omuganda
Ng’ali ku buko odduka misinde
Ng’empale zimwetippye n’effuba alitadde!
Abakulu obalaga otya nambaalaala!
Sso nga n’omukazi okumuwa ekitiibwa
Nga yakwata bulungi obulombolombo
Aggumidde bulungi asibye ekiganda
Kizibu okumuyitako ne ssimubuuza
Kiraga n’obufumbo bwe okuba obuteefu
K’abe nga tannafuna wantu wa kutuula
Bw’oba ng’asengejja mu bye njogedde
Ne ba nakazadde nsaba mbabuuze
Nti singa naaba nkwambula Obuganda
Kiki ky’otegese ekinaakutaasa?
Nga nkulaga Omuganda owa leero
Ky’oba osooka kya kwesaasira
Okulaba ng’ensonyi zoomumaaso
Twazinaabamu kati ziri nkoto
Naddala abakyala
Empisa z’abakazi zaabaggwamu dda!
Ate ne bakoppa byebataatuuse
Beetippa obugoye obw’obutundutundu
Obuttattanira ddala Obuganda
Bitundu by’omubiri ebifuga obukyala
Laba bw’akunnumba nga biri wabweru!
Teri afa ku bufumbo bwe kuba buteefu
Mpozzi bettanira nnyo obwamalaaya
Basitama ne mu mmere nga bagiwaata!
N’omwana gw’alina n’akwata ekyo
Kitalo kitalo baana battu
Kitalo nnyo amawanga gatusunga
Kitalo kitalo baana battu
Kitalo nnyo Abaganda twewemudde
Mugira mukyazannya naye ntuuse
Obbambula Obuganda nze
N’amannya ngabaggyeko
Kisinga lwe wabulawo enjawulo
N’ekitiibwa nekitufa
Oba nga mwesiga nguzi ya kunvujjirira
Nze okutunda Obuganda nkyesittala
Awatakyali afubako na kubuzza ngulu
Kaakati buweneenera awo tebukyagasa
Kitiibwa ky’Abaganda kiweebuuse
Lwa nsonga ya bikoppe kutuwoomera
Temukyatendeka na baana bifa ku nnono
Kw’oteeka obulombolombo okubuziŋŋamya
N’olulimi mwalufuula terukyanyuma
Ekkula ly’Oluganda olwali eggero
Ndowooza eyajja n’oluzungu okulutwogeza
Y’eyakumba n’Oluganda
Ate ssi na kyokka baanyaga bingi
Kati tunuulira ennyambala bweri
Empisa n’obuko ebyo birwadde ddala
Sso nga kitiibwa kya Baganda bwe bikuumibwa
Kye nvudde nsalawo nze mbwetikke
Ŋŋende mbaloopeyo nga ntutte ettu
Era Ssaabataka gwe nja okubiwa
Okutuusa lwe mulitwala engassi
Mmwe ab’Obusolya munoonye Amasiga
Kinnyambe bwe ndibeera mbakima
Mmwe abalala mutwale obubaka
Nti Obuganda bubuzeeko ayamba
Ŋŋambye Ssaabataka gwe nja okubiwa
Okutuusa lwe mulitwala engassi
Mmwe ab’Obusolya munoonye Amasiga
Kinnyambe bwe ndibeera mbakima
Mmwe abalala mutwale obubaka
Nti Obuganda bubuzeeko ayamba
Nsiibudde