Abange abampuliriza
Nina ebigambo bye njagala okwogera omanye
Abagagga be babintumye
Beekokkola abaavu ababafitina
Nti kubanga baabayitako
Ne babakolimira ssaako okoona emimiro
Abalala babaagaliza kufa
Bebuuza empalana ennyingi kwe yava
Nga tewali azaalibwa alina
Babikola bukozi ne beepakasiza
Ng’oggyeko ababeera basise
N’abatonotono mpozzi ababa banyaze
Naye abasinga gaba maanyi ge
Ne bakozesa obwongo n’emikono gye
Kati oyo okijjanya waaki?
Kye bavudde bantuma nange mbaatulireko
Nti osanga munakyusaako
Okuwalana omugagga n’omukolimira
Olw’obugagga bwe
Katonda eyamuwa mpozzi gw’oba onyiigira
Leka kuba nga kiiso kya mbuzi
Eyakumma y’eyabawa osaanira omanye
Tewali akutte mikono gyo
Bikolimo by’enkoko kamunye yandiweddewo
Kyokka no ayongera kwanya
Oh wooloolo ku luno nkutte waluma
Abaavu mbaatuliddeko
Bannamwe abagagga be babintumye
Nze ate ebigambo byankubirwa ddi?
Omuntu bw’afuna obugagga abeera mu kabi
Olw’abo abamufitina
Aba ng’eyazza omusango olw’obugagga bwe
Buli omu n’amusongamu
Baleeta ebyawongo okuloga akome
Ate kye baba batamanyi
Ne bw’ofa taagabane ku bintu by’olese
Kati olwo otengejjera ki?
Katonda gwe yawa ne bw’ojja n’osera misana
Ng’oyagala akome
Buli omu ku nsi kuno aba ne riziki ye
Awono omala bya busa
Kyova tokiika nsingo ku baba bafunye
Katonda y’aba amuwadde
Kye baava bamuyita omulalu ku bintu by’agaba
Obwo buba buyinza bwe
Agenda n’abiwa omuntu nga tabifaananye
Mu kikula ne mu myaka gye
Tebifaanana abifuna tulabye ntoko
Kyokka nga ye nannyini byo
Olekanga omugagga n’ayinaayina, ah
Katonda y’aba amuwadde
Nebwonookolima n’abaafa n’obazuukusa
Tewali kyoneeyongerako
Ne mu bitabo bya Katonda baakiteekamu
Nti ako akatono k’olina
Balikakuggyako ne bawa omuvundu alina ate!
Era gwe n’osigalirawo
Makubo g’okufuna tulina ntoko
Abagagga mwe bayitira
Buli omu gy’avudde anyumya n’oseka
Abalala bayita wabi
Bijja bigereke oluusi abeera na muto
Kati oyo onomugamba ki?
Ataasoma ate oyo akoza basomye
Mazima n’okyewuunya
Edda ng’ayitibwa omugagga aba kinviivi
Naye kati babeera na bato
Oh wooloolo ku luno nkutte waluma
Abaavu mbaatuliddeko
Bannamwe abagagga be babintumye
Nze ate ebigambo byankubirwa ddi?
Abagagga boogera kimu
Okuliraana omwavu waakiri oliraana ensiko
Buli kamu n’alingiriza
Ne bw’ogula obuguzi ekintu ky’awaka
Olwo no n’abisalaganya
Ne bw’oba okomyewo eka mu budde bw’ekiro
Ng’omuntu bw’atambulako
N’ofuuwa eŋombe bakuggulirewo
Olwo no ayomba n’aloma
Tunaalaba abagagga otubuza otulo
Na zino eŋombe z’ekiro
Ye n’omala ogwaako ekizibu awaka!
Gamba n’ojja ofiirwa
N’owulira ebigambo ebiyitiŋana
Nti oyo aziikira kw’ani
Tetujja na kusima ntaana abyekolereko
Ekiro ne bawowoggana
Ekinneewunyisa bwe bagwa mu buzibu nabo
Emisinde baddukira wuwo
Ayagala omuwe emmotoka n’effuta lyamu
Bw’omugamba agule amafuta
Anyiiga bunyiizi nti waakiri yandireseeyo
Olwo akufuula omubi
Ne bw’abaako ky’atunda takikuguza
Anoonya muntu wa wala
Nti waakiri bakinseera oyo naatakigula
Wulira omwoyo gw’effutwa
Babeera n’entondo k’omusaagisa
Nti omugagga yanduulidde
Kyonna ky’oyogera n’akikuliriza
Kati oyo omwekuuma otya?
Kayembe ka kkovu ne bw’oba oyagala akole
Ate ng’omwetowalizza
Alaba ng’ate ye olwo aba akusingako
Era nga bw’akumanyi nnyo
Ne bw’oba ne banno nga mwesanyusaamu
N’akeŋeetererwa, boonoona ensimbi
Ng’otodde ku zize, hmmm!
Bali nze bantabula nnyo
Ne bw’omuwa ekintu asiima mavumira
Nti ndaba oyo atoola wagumu
Bali nze bantabula nnyo
Ne bwe muba mu kika y’asiiba akolima
Nti ffe abaavu tunaayogera ki?
N’aleeta kiremya ku bye muba muteesa
Bw’agira ne yekandagga
Ne bwe muba baaluganda okwagalana ennyo
Nga mwenna mulubalako
N’omukopi mu olwo abeera wa kabi
Ekirungi n’akiyita kibi
Ne bw’alaba amasavu ne yeegagassa
Ng’amasavu bw’aba tagalya
Onoogaguza ki busente onyiga bunyige
Fumba moggo n’omubwatula
Nsaasira abakyala baaba bafunye
Tewali alikisanyukira
Ne bamulangira ebingi n’ekikula kye
Nti kirabe bwe kibeteggera
Sikyanenya bagagga bazimba bikomera
Bino bye babeera beepenye
Bawoza nagagga ali mu lubiri lwe
Abeera yeetaasizza
Kye baava basalawo abamu okuzimba e Muyenga
Gwe ani anageya munne?
Bakola ne group ezaabwe ez’ebinywi
Okuuma omutindo
Nti abagagga n’abagagga baagalana kufa
Endowooza balina zimu
Maliriza buli omu yeetunulemu
Gwe omwavu abadde akolima
Obwavu ssi bulwadde nti oba bwakulemerako
Bw’okola ennyo obwetaasaako
Oh wooloolo ku luno nkutte waluma
Abaavu mbaatuliddeko
Bannamwe abagagga be babintumye
Nze ate ebigambo byankubirwa ddi?
Aah!!