Kye nva njiiyanga ne ssinyoomebwa
Kati ekiti ekyange ebinvumya mbitya
Nkuŋŋunta emirundi gyotasuubira
Ky’ekinnyamba okufuna ebibawoomera
Leero nfunze n’empale nzije mbayambe
Nnyanukule ekibuuzo ekibasumbuwa
Nga mwagala okufuna abaana ba luno
Kye bavaako okuba ku nguudo bwebatyo
Luli twekwasa lutalo lwe lwatuzinda
Bakadde b’abamu ne bazikirira
Nze naye ku luno siiruwaayire
Zinaaba mpisa mbi bubi abaana ba luno
Nga n’ekireetera ddala emberebezi
Gwe mwenkano abamu gwe mwafuna maka
Ba nnyinigwo okubalema okukozesa
Buli omu n’agufuna engeri gy’alaba
Abamu bakiyita butafugwa
Olwo ebitiibwa by’amaka ne bitokomoka
Ekwata afumba ekaza n’ekibya
N’obuntubulamu mu bato ne bulekulira

Ngya kusaba obake ettabaaza yo kati
Omuliseeko kw’ekyo ky’oyita amaka
Tutandike okugageza ku ga luli
Ebivaamu olabe gye bitusindika
Ffe twalina bingi ebyatugunjula
Okuva ddala emyaka egy’eri mu buto
Nga k’oggyamu emize egitayagalibwa
Ng’omuli w’abaana ajja kuyitibwa
N’omuntu akkanga ng’aweebwa nsimbi
Ng’ayita n’ogukapu ogutiisa abato
Lw’ayise awaka ne bamuloopera
Ng’abadde n’omuze olina kuguleka
Omwana n’akuzibwa mu nkuuma esaana
Ng’alandizibwa miti egitalimwevumya
Naye okisanga wa mu bazadde ba luno?
Tekyali budde bw’abato nsaba onzikirize
Kwe kola kw’abakazi okwajjawo kati
Olufuluma omukyala n’agoberera
Okuyingira ettumbi kuba kwebaka
Olwo amabujje go ndaga aliba agaluŋŋamya woo!

Eyo entegeka y’amaka gye tulina kati
Omwana olumusuulawo omukozi y’amanya
Lwaki taafuuke ekitatembeka?
Oba nga ne gw’alekerwa tamuwulira
Kyava yetwala mu ngeri gy’asanze
Oluusi n’abamu obujeemu gye buva
Bwe yeetaba mu bakyamu gy’atabaalira
Eyo gy’ava street n’azibuukira
Kye nva nkaabira ebiseera bya luli
Kuba ffe baatulwanako obutawaba tutyo
Waaliwo n’ekkomera eritugunjula
E Kampiringisa naye ssikyaliwulira
Lino nga k’ojjamu olutumba tolibuuka
Okasukwayo emyaka n’okamirika
Banno ab’ekinywi bwe mwali muyita
Ne basigala okuwuliza obuwuliza
Aba luno ne bwe banaamera amayindu
Bafunye nnyo ebbeetu ekitasaanira
Ndowooza banaatera kufuna anaabateeseza
Ssi ku buno obubaga obubafumbirwa

Naye tulidda wa mukyali mu nseko?
Abaana ke balyekoba otufuukira ensolo
Tulinenya ani olwo alijja n’awoza?
Nga twabawa diimu!
Baabo ne body bagyenga za mbala
Bannange emmere y’ebipipa ezimbya mibiri
Y’asula n’ebweru etonnya n’ekuba
Alyeguya ani oyo?
Baba bagumu okira empologoma
Oba nga n’olumu asulirira enjaga
Lowooza gw’alizaala embeera mw’aliba
Kitalo bannange!
Sso nalootako kko bwe nzijukira
Nga Uganda beekobye ogiwambira ddala
Naye nga babase mmundu enduulu n’evuga
Ani alibaŋŋanga?
Katulunde tiger olinzijukira
Abandifuddeyo tuziraga nseko
Ne mchaka mchaka mbadde baakola
Ebirisinga awo ssi bya ssanyu

Eggwanga bwetutasabe lizaayira ddala
Naye nga kye livuddeko ssi kintu kirala
Bwetutakyuse embeera gye ndaba
Musaayi mwereere
Nze nkuze y’abaana ennengeza wala
Bannange twesize ki mu kutendeka ensolo?
N’azadde abakungu tojja kwebaka
Fred kinkanga
Era ne gavumenti mba ngisaasira
Bwetefeeyo kino kitunuulira
Uganda eri ku bw’ani eno ey’enkumi ebbiri?
Mukyagaya ebyange
Nsaba tuzuukuse enkola eyalingawo
Abaana tuddemu obagunjuza oluga
Nga bw’amera ettumba abaako ky’akolwa
Kikange n’owange
N’ekkomera ly’abaana nkyaliwagira
Nsaba bazimbe n’amapya otutaasa ku nnabe
Ku lwa Uganda y’omaaso etajja kwevumwa
Bwemutaafeeyo bye mulyejjusa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *