Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
Omukama ye wa kutendwanga
Yee, ettendo n’ekitiibwa tubiwenga Katonda
Ate ani, ani amwenkana?
Anti mu linnya lye
Byonna bifukamira
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
W’amaanyi ye wa kutiibwanga
Yee, amaanyi g’alina oyo ga njawulo wamma
Yekka omu byonna eby’eggulu
N’ebyo eby’ensi,
Byonna y’awanirira!
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
Tumwebaze Ddunda y’atwewa
Yee, oyo olw’ekisa kye yatuganza abantu
Ffe luli edda, ffenna bwetwawaba,
Ye nno mu mwana we
Ffenna y’eyatuggyayo
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
Mu Kristu ye mweyatweweera
Yee, ffe Kristu olw’okufa kwe netufuuka bawanguzi
Ebyedda byonna olwo byakoma
Anti mu mwana we
Leero ffe mikwano gye!
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
Amiina ye wakutendwanga
Yee, yekka ow’ekitiibwa tumutende Katonda
Ffena ffe abaana ab’engoma
Taata atwagala
Ffena alituwanguza
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu
Abaagalwa mwenna mujje mmwe abantu
Tugende ewomukama tumusinze wamma
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama
Byonna era n’obulamu