Oh oh oh
Yenze Spice Diana
Alimpa
Abaafuna
Nessim Pan Production

Alimpa
Eno ensi ngitunuulira n’ekoma
Tekyali ya mazima na bwenkanya
Omwavu kaatetenkanya abe obulungi
Omugagga k’abalirako yekkuse
Efuuse y’abalabbayi bakenuzi
Amaanyi ky’ekigammala mu bye nkola
Nnoonya wendikonkona nzigulirwe
Nze atalina nsimbi nti ngulirire okunjuna
Bweneebuuza ku bansingako bantegeeza
Nti guma ne Bible bw’ekirambika
Nti omwavu k’aliba alina kalitwalibwa omugagga
N’akagattako kw’ebyo by’alina

Both
Tukolerera baafuna
Mukama wanditujunye ensi okukyuka
N’omukozi n’aganyulwako mu ntuuyo ze
Naye aah ah, alina y’ayongerwako
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola byenjagala maama
Bwennyumirwa bwentyo

Spice
Jjukira lwebaakugobera omwana gy’asoma
Okuddayo watunda n’akatebe mu nju
Nga kyokka okeera kukola ng’era obanja
Nga naye ne gw’obanja naye era abanja
Abantu kati kuluno bafuuse ensolo
Ssente zibamyusa
Buli afunyeko ayagala kutuula yekka
Mbu abalala ebyabwe byo bikooya
Nze kati kuluno taata kye nsaba ah
Onnyimusize ekitone kyange
Onyigirize enemy wangu
Olwanenga n’abalabe bange

Both
Tukolerera baafuna
Mukama wanditujunye ensi okukyuka
N’omukozi n’aganyulwako mu ntuuyo ze
Naye aah ah, alina y’ayongerwako
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola byenjagala maama
Bwennyumirwa bwentyo

Both
Eno ensi ngitunuulira n’ekoma
Tekyali ya mazima na bwenkanya
Omwavu kaatetenkanya abe obulungi
Omugagga k’abalirako yekkuse
Jjukira lwebaakugobera omwana gy’asoma
Okuddayo watunda n’akatebe mu nju
Nga kyokka okeera kukola ng’era obanja
Nga naye ne gw’obanja naye era abanja

Both
Tukolerera baafuna
Mukama wanditujunye ensi okukyuka
N’omukozi n’aganyulwako mu ntuuyo ze
Naye aah ah, alina y’ayongerwako
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola byenjagala maama
Bwennyumirwa bwentyo

Both
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola byenjagala maama
Bwennyumirwa bwentyo oh

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin