Kano, kaakubatuulamu
Fresh Kid waakukibuukamu
Sabula Boss katubakoonemu
Kapiriiiii Kapiripiiti, yo
Nze Kapiripiiti
Mwana nze Kapiripiiti
Nzize kubakuba mwana hit
Azoleya, bonna kapuuti, eeh!
Nze Kapiripiiti
Bampita Kapiripiiti
Nzize kubakuba mwana hit
Azoleya, bonna kapuuti
Nze omuto alina okubaawo
Nze aliwo Fresh Kid wakuvaawo
Tekaagala soma ketaaga kibooko
Kagalamiza, kakuba bubaawo
Tozoleya, rhyme owulira bwe tuzirya?
Kapiripiiti yenze omubaaya
Ndi bad n’omuliro ngugaaya
Kyawandiikibwa mwana nze okubaawo
Kino kyo, ky’alina okubaawo
Nkubirawo, saagala kulwawo
Gwe Fresh Kid lemera mu kkubo
Nzije nkukube knuckle musujja
Kapiripiiti nze bwentyo bwengitambula
Ba ffala ba Fresh Kid nze mbalabula
Nkyanoonya ansobola eh, yambula
Ekikumba nkikuba mwana mumpulira
Abandaba mwana munjulira
Lugaflow kirwadde era nze ndi ddagala
Bekinyiga mbalengera baagala ddigula
Nsotta, nunga, ngatta manyi okugaaya evvu
Buli wempita badduka
Ngyereketa badduka
Beefukuta badduka
Mbagatta naye tebanfuna
Ebigambo bye nina nkota
Mbakeeta ng’amajirita
Kaboom!!! Eeh!
Okyanuuna ekigalo ofuka ne ku buliri!
Lwaki omanyiira abakusinga emyaka?
Lwaki ozoleya abakusinga work?
Tetuli mu lutalo, lwa kuttunka
Okyali na kaana kato laba amalibu
Laba akabuto
Kikomye awo okuzoleya abayimbi
B’olabiddeko okufuuka omuyimbi
Feffe Bussi kabaka wa rap
Big up, mu Hip Hop
Omutujju ate omusomesa
Abaliddawo, n’abalivaawo
Fik Fameica, mu kya style boy oli kabaka
Teweerabira mwana gy’ovudde
Bangi bamaze obudde
Amangu ago beerabidde
Kankome awo kuba ompulidde, eh
Nze Kapiripiiti, Omubaaya eh!
Sabula
Hypers
Manager akwokya mu Hypers
Luga Bwoy mu hypers
Buli omu mu Hypers
W.M.F
Kapiriiii!