Ssi Binene Lyrics – Chris Evans Kaweesi

Nessim Pan Production

Kino kibuuzo kya buli omu gwe ndaba eyo
Naye omukwano ddala ky’ekiki?
Na buli gw’okibuuza kimusobera
Kababe abo ba kagezimunnyo kibatabula
Omukwano ebintu ebigukuuma bw’obikwata
Ogukuuma kuba tebitama
Kwe kukootakoota n’owuwo oyo
Ng’omukwano gubasaza mu kabu kale
Ebitta laavu y’abasinga b’olaba eyo
By’ebintu bye tubuusa n’amaaso
Ggwe k’olaba nga katono nnyo ku ggwe bambi
Oli ke kamutabula obwongo

Oh bambi ssi binene
Ebitta omukwano ssi binene
Munno wo ofubangako okumutegeera
Ebitta omukwano ssi binene
Ssi binene
Ebitta omukwano ssi binene
Munno wo ofubangako okumutegeera
Ebitta omukwano ssi binene

Abalala bagezaako okukola bye basuubira
Nti oba ng’oli awo, by’ebyo ebigukuuma
Okugeza, nga ssente
Nti by’ebimu ku bibeezaawo laavu
Singa kiri kityo bano abagagga b’olaba
Be bamu ku bandibadde beenyumiriza
Nabo bibatabukako ssente nezitagasa mu laavu
Osanga b’onyooma mu bigambo bya ssente kale
Ng’olwo ky’ekyobugagga kye ono n’oli bwatyo
Ggwe by’owoza nti ebigukuuma ze siringi
N’abagagga babalekawo nga tulaba

Bitono by’asuubira
Bitono by’ayagala kale
Bitono by’ayagala kale
Bitono nnyo munno wo by’asuubira
Bitono by’asuubira
Bitono by’ayagala kale
Bitono by’ayagala kale
Bitono nnyo munno wo by’asuubira
Ebitta laavu y’abasinga b’olaba eyo
By’ebintu bye tubuusa n’amaaso
Ggwe k’olaba nga katono nnyo ku ggwe bambi
Oli ke kamutabula obwongo

Bitono munnange
Ooh oh
Bitono munange
Ooh
Aah ah
Ebyo by’onyooma
Aah
Bitono munnange
Ooh oh

Submit Corrections