Kampala mu Kooti Lyrics – Paul Kafeero

Okuwangaala kuno kutulabisa ebintu
Ssebo n’otunula n’olaba nga bw’otenda
Bituusa n’abamu okutukubya enduulu
Ez’ekiro tubuleko abataakiriza
Enjala y’ekiro ng’etayiza awudde!
Okukeeseza ddala mu bibya nga by’okomba!
Kwekwo okwanjuluza emba okufaanana goonya
Gwe ate mu matumbi ani gw’okaluubirira?
Faanaganako omutwe gwe gwazodde
Abawaayiriza endigi muwaayirize
Kirikutuukako olinjulira olulala
Nti ebirabwa bikyukanya ebyenyi
Ebintu bya luno okutuwuniikiriza
Emperekeze ekigiyirizisa leka ŋambe
Omugole atunula mu butuufu n’akiremwa
Nga kintu kigumu kifaanana ejjinja!
Abaawulidde ku mbuga oluyoogaano
Byabadde bibuga biwaabira abantu
Nti tubirinnyirira nnyo nga tudduka ebyalo
Kkooti y’eggulo yawoomye n’ekamala
Twalangidde Kampala okuwoomerera
Ne tukalambira nga ye bwe yegaana
Kko ffe tugenda kukaluubirira
Ne bw’ononyiiga ogobe abatembeeyi, eh!
Kkooti eggulo yabadde ekwata omuliro
Nga Kampala mukambwe okukira ennumba!
Ng’ate ne baawaabira bakira enswera enkubeko
Ne tunyumirwa ensisinkano ey’owamaddu n’omuluvu
Owooluganda kkooti!

Kampala yekyaye oba n’omuyoorerero
Prosecutor n’asaba tucoolinge
Olwo n’atandika okusengeka empoza ye
Nti ababbi mu byalo simanyi baabagoba?
Yasookedde ku bafere ne yebuuza
Okuliimisa abagagga emmundu eramule!
Bwe yatuuse ku bwana obuto nabwo naakalala
Obumuzimbirira obungi butyo bw’ava wa?
Tetugaanye oba abakadde baabwo baggwawo
Emizimu gyabululumira eno nti nze mbujune?
Bumubbira abatuuze okamala obumazi
Bwe byatuuse awo kirerya n’ayimuka
N’agamba Kampala nti ye munnanfuusi
Obutabasasuza we beesulira
N’atuuka n’obuwa emmere eyasuuliddwa!
N’obutakoonwako ne butaayaaya
Gwe baabigambye kwe kutandika okukula
Nti oba nno guli bwegutyo leka mbagobe
Gwe ate mu bancaafuwaza okubaamu n’abalalu!
Ono ssi Kampiringisa olwo mbukole nga ntya?
Mu kavuvuŋano ako n’okuleekaana
Ne Mwami Byanfuna we byamukwatidde
Amaka goomukyalo okugasuulirira
Naddanga e Namuwongo n’alatta!
Oyo mu kwewozaako kwe okwejjingirizi
Yasoose koteka mutwe apalappalanye
Mbu amasannyalaze gamulemya by’ayiiya
Eby’essakala kwe kubikuba emabega
Ebintu byabaddemu akasiitaano
Buli omu n’atuwa empoza nga bw’ajuliza
Looya w’ekibuga n’alaga ekimwennyamiza
Okusuza abatakola ng’ate bakeera kulya!
Bwe nawulidde ebyo kwe kunaawuuka
Nze omuntu akwata guitar nga bwe nnyimba
Ekimpalampisa nzire e Bukunja nate!
Looya n’aŋamba nti ebiduula twabiwera
Bisika endwadde biralusa n’abasoma
Bimazeewo n’obufumbo bw’ababyettanira
By’ebiyinula n’abawuulu eka ne badda nkya
Lwe bayiiya eŋŋombo za tusula mu ngatto
Kko Dikuula nti nze kambakeere nkya
Ng’era omuntu apakasa bw’abeera
N’atabaaza amazina Kampala n’amubuna
Gali bwegatakutema lubale gakugubya ekibuno, ho!!!

Ebyembi bisekwa era bangi baatulise
Nga buli omu ensonga emuluma gy’aleeta
Mbu bannamwandu ewaabwe kituufu baddukayo
Nga bwe baneesiba gye baamanyibwa bafe obukalaga?
Eyakiikiridde bamalaaya n’ayimuka
N’atema akalali ke ddala nga bw’alatta!
Nga bw’atajja kuddayo ka kibeere ki!
Mbu bakaasitoma nkumu ababettanira
Baasabye n’etteeka ery’okutongonza ebikiri
Mbu ekibuga kibeere n’engeri yo
Kwegamba abamanyi okudigida omukiri
Ebikeesa babinaabenga ku suulwe enkya
Ne mu Paalamenti ekifo baakisabye
Bakiikirirwe kuba mulimu aba diguli
Kwekugamba gufuukire ddala omulimu
Nga buli wa lulimi lwe ayagala ajje alamuze
Munnange Kampala yaboggodde!
N’akuba emmeeza ku bamalaaya abeeyanika
Nze nabadde ŋamba nti laddu y’etukubye
Mbu ki bamukunamiranga ekiro n’emisana?
Beeyerusa okufa bafungula ensambi
Ezaakuluusana edda n’obuviivi obwa bbululu
Bonna n’obukongovule obwa kakobe
Ko n’entumbwe ezifaanana entula ezikonye
Temukomye okwo mubambira abayise
N’emimwa egyakuluusana edda eby’obuwemu
Bamokkola agagambo agenkana emizindaalo
Wa gye baagaggya ko ffe nayo watuuseeyo?
Mwebikkulira ne bakabona bagwagwa mmwe!
Ne mubanjalira ebibuga by’abaluvu
Abataswala mmwe ensonyi wa gyezaabalaga?
Mwava wa okutwesittaliza n’abasoma?
Kati nno Kampala asaba munnamateeka
Amuwe olukusa okuli n’ebiwandiiko
Alunge kalali mu nguuli enkambwe ennyo
Amubayiire e Kampalamukadde!
Eh bwe byatuuse awo ne Meeya n’asituka
Kampala teyamulinze na kwennyonnyolako!
Mbu amusibyeko obunyaga amuwunyiriza emyala
Kampala n’acuumuuka emiryango n’emmanju
Ekisinga okuluma Kampala z’enkwezenge
Obuyonjo obukolerangako ddala empalana
Ye n’ayonja nga mmwe mulegamya ebidiba
Ne muddanga ku City Council okulindanga
City Council eyita ku mbwa gye baanyantudde
N’ewunya ekivundu okusengula emizigo
N’egenda enyeenya omudaala gw’ebyenda!
Gugwire abatunda obunyaanya ne nakati eh!
Yataamye nnyo ne ku bamanika n’abuuza
Bo okugubanga engeri emenya etteeka
Olubeerera ne baba nga be baasiiseeko
Okucaafuwala ne bagufuulira ddala omulimu
Ne wayingira omusogozi w’obutunda ate
N’oguzibiti ogwa sseppiki nnamba
Ne bamubuuza ekiwero ky’akutte nti ky’ekyokumutwe?
Yasonze ku kinyoozi kko ffe bino binaaba bitya?
Mbu oyo ye yamwedde omutabbuliiki omulevu
Empewo olwazunze eti ne gufuumuuka
Ne gwekkata mu sseppiki yange nnamba
Kiwero mbadde nsengejja gwe gundeesezza
Ate mu bafumbi b’emmere ho!!!

Waliwo gwe baakutte n’ekipampagalu
Eky’akapiira akaawedde okozesa emirimu
Kaawamattuse mu mayumba aga kalina
Ne kamansukira Town Clerk waliira oh!
Dokita olwawulidde kw’ebyo n’ayimuka
Ne kaazi ye mu luzungu olukambwe ate
Era y’ebigambo yayogedde bina
Nti ‘What’s this? This cholera’ n’afuluma, hoo!

Oyo ow’amasannyalaze okwewozaako kwamulemye
Baamuvunaanye emididi gy’atukana
N’obudde bw’agatuggyako era n’atubala!
Nti oba wano teganatumala ewa Arap ogatundira ki?
Gwaki ogutulabisa ng’endali z’abazibe? Eh!
Kampala yamulangidde by’amukoze
N’obuseegu bw’empisa ne bw’aba asimba miti
Okuwemula okukufuula magalo ekwasa!
Yatuuse ku basawo Abaganda ne ntya nnyo
N’abalangira okumuwunyiriza cuucu
Be baguza ba Nakirijja emmindi ze bakommonta
Era z’ezigenze ziwunza abafumbo n’abatali
Zaafuuka mmere y’abagobebwa ku mirimu
Bannange kiri ku batannagizuula ate!
Bonna eyasoma ne ba nawoomerwa emboona
Emirimu n’abalina bajula ozibatikka bamekete
Gwajabagidde nno ate ku b’ebbaala
Eby’okutunda omwenge ku nkya baabiweze
Abakuumi b’ekiro nabo ne bebuuza?
Nti bwe banaagunywa amatumbi banaakuuma batya?
Owa Bodaboda kwe kusituka ayombe
Nti eky’okubagoba tekiba kya buntu
Kulya kwe kutulyazaamanyisa ez’omusolo
N’enkuba etukuba nnyo pamiti zaatutobako
Ne babagamba bakomye okuleekaana
Baabagaanye okubambira abayise
Ko n’omuze gw’okuvumanga abantu
Ne bakaabasajja mubasonseka obwama
Ne ba bbulooka b’amayumba baalabise
N’aba mmotoka basabiddwa boogerebwe
Ky’abadde kijjobi nga tuwoza essango
Ekitulesa obuzaale ne tuwumpuguma
Abasazi b’ensawo bo mu kucookooza
Baakaayanye bwe basusse obutafiibwako
Mbu nabo benyiye okutigomya abantu
Naye ate bwe bakwatibwa bateebwa buti!
Omuyiisa wa kwete naye n’ajja atusesa
N’owaamalwa ko n’omulamuzi n’atulika
Balangidde Kampala osenza ba luumu ana
Okunywanga ogw’ebbanja ayatule gy’abajja
Yabadde atandika nti aba Poli…
Court adjourned!
Omulamuzi n’asaba tuwummulemu

Awo akabuuza ku ba Patiriisi kaafunise
Kuba ebibuuzo byonna byonna byabalemye!
Baabalangidde enguzi etakuba ku matu
Mbu ate abaalaga ewa bba ki akanuka omwenge?
Kampala yecwacwanye n’akamala
Nga nno n’olutondotondo kw’atadde
Nga ne kw’atondowalira nabo emba zaabakapye
Baagwaŋanyeeko Omukunja ne Kirugu
Ne bakwata kidima baawulidde baasituse
Bwe balima ebikungulwa be babyeliira
Ababisuubula babasiiga ttoomi
Tujja kubireka tufa okukoowanga
Omuwolereza w’ekibuga n’asituka
N’abikangalizaamu nga bw’ababoggokera
Ntegedde bwali bwavu naye kye mbuuza
Kiki bwe mufuna abamu mutwesibako?
Kko bbo nti gwe ogejja otyo ogaaya mpapula?
Ye oba ekyalo okiyita matooke kulya?
Naawe ojje ojje osengeko e Bukunja olabe
Egyo emimwa bwe gitakucheze wancekeca!
N’ezo ekkooti bwotoliziddiza mu matu, heee!!

Obudde empinga yo yabutuliiridde
Era omulamuzi kwe kujuliza ensala ye
Bweneeba ey’olutuula oluddirira
N’emisango egimu Kampala agiwaabe bupya
Empaka za bannalulungi ba ziteesaako
Ne bannamawulire ab’empapula empemuzi
Kizuulwe oba bamala kwekobaananga
Okufulumya ebifaananyi ebiwunya ng’ebyawongo!
Bonna n’abobugoye buno bu kundi sho
Na warning agaba layisinsi ezibuleeta!
Mbu ye Kampala alina ebimuli ebimusanyusa
Ssikumwanjalira mugaba akira ebiguudo by’e Ttirinyi
N’essaala z’ekiro nno baazikoonyeko
Naye ne simanya ddiini ki eyo eba ezisoma
Era baayimirizza n’okwesokoola ennyo
Bibeere bimu ku by’olutuula oluddirira
N’owa Post Office bagenda kumwanjuluza
Nga naye bw’ayanjuluza ebitereke bya banne
Ne yeeroboza n’okubuzaabuza ba nnyinibyo
Be babiweerezza kko n’abaweerezza
Kwe kugamba Kampala ye yatukyaye nnyo
Ffenna naalumanya ne saalumanya
N’enzigi z’amawanika kwe kuzikwata aggalewo
Alabe ne ku gye tunaaterekanga ezitweyinuza!
Oooooh!

Olumala okwota lukugira lumansa amanda
Nti gwe bw’olirinnyako likusavuwaza nasswi
Abataayi mweraba kaŋende mpummuleko
Olutuula oluddako enkoko ngya kugikwata mumwa
Bwentyo lubeerera mbasiibuza ssimbo
Nga mbaagaliza okusigala mu ddembe
Kati nze ŋenze okuteganya emimiro
Eby’olutuula oluddako ngya bibabuulirako
Eh nze ŋenze oddobonkanya emimiro
Eby’olutuula oluddako ngya bibabuulirako
Bataayi mweraba kaŋende mpummuleko
Olutuula oluddako enkoko ngya kugikwata mumwa
Nze mbaagaliza kusigala mu ddembe
Bwentyo lubeerera mbasiibuza ssimbo
Abataayi mweraba kaŋende mpummuleko
Olutuula oluddako enkoko ngya kugikwata mumwa
Bwentyo lubeerera mbasiibuza ssimbo
Nga mbaagaliza okusigala mu ddembe
Kati nze ŋenze okuteganya emimiro
Eby’olutuula oluddako ngya bibabuuliriko
Eh nze ŋenze oddobonkanya emimiro
Eby’olutuula oluddako ngya bibabuulirako
Bataayi mweraba kaŋende mpummuleko
Olutuula oluddako enkoko ngya kugikwata mumwa

Submit Corrections