Hip Hop Saviour Lyrics – Jim Nola

Ng’enkomerero y’ekidandali enaatera okutuuka
Ba rapper ab’obulimba balijja nga bangi
Tulibalabira kuki ssebo?
Mulibalabira ku bikolwa byabwe
Ennyambala n’ennyimba omutali makulu
Awo hip hop saviuor aliba atuuse

Jim Nola MC

Yenze soil erosion, you’re the agent of course
Tonsuula k’obe gravita…tion force
Big rat ba fake pussy mbakaabya of course (meow)
Fake farmer yiika amaziga ogudde mu loss (oli mulimi)
Nga dummy mu boutique omanyi kimu kwambala label
Tolina work just olina connections nga cable
Oli yala, ssente ozikama Ivi.
Gwe ka mafia, toy pistol tewamba Kampala ssebo
Oli fake ka nkwabye nga lumbe
Bw’ozoleya nkukonkone engolo ng’eggi effumbe
Gwe Fik kikumba tewandibadde na mu bino
Wandizzeeyo n’oyimba knicker zo mu Owino
Rapper omutuufu talya ku nnyambala
Alya ku kigambo kye nga prostitute ku bbala

Gravity entunulayo ekutuza embuzi (embuzi zaakutudde)
Flow olina emu nga bu tooyi bwa kalina mu ntobazi
Amaanyi, olina ga chimpazee
Walina kusimba miti gy’amasannyalaze
Rap sikuwoggana, bwongo
Si kuwemula si kwalula balongo
Akuba ebidongo mu Luganda aba mudongo
Naye mu ffe abadongo mwana mulimu abadongo
Ba chali mutwogezaako
Musobola okyusa lwakuba mutya ogezaako

Gwe mobile money agent
Biki by’okulukuta nga tolina content?
Kambalabise nga goggle mu 3D cinema
Awulira obubi waakufuluma ndeese enema

Waliwo ono Victor, akama ennyo
Ente okufa yagiwa butwa ng’emummye akazannyo (wamma)
Yali wamu ne munne Feffe Busiru
Ono eyazannyidde ku kambe akasale embalu
Munyiiza nnyo kale
Ate nze nzijula mangu ninga ttooyi ya lukale
Ndabye ebinene n’ebitono nga dokita azaalisa
Kasajja katono okanyoomera mu boxer
Nze Jim Nola Emcee new regime star born boy
Hiphoptamus envubu Abedunego

Nakuza mutwe nga number nine (Jim)
Nze abakulu ntya ba mu shrine
Ng’omubbi w’amasimu nsuula line (Jim)
Ntunda nga bupiira ku valentine
Bayimba ebitaliiyo n’ennyimba ebiriyo
Ndi chef gwe ayoya beef leeta plate yo
Nga dinosaur ku lusozi mpanda muliro
Wadde tojjanjaba ntunuka nkulaga olugalo

Hee! Mbasinga obwakabi (you feel me?)
Bansinga myaka na bubi
Nze nazaalibwa kuba waakabi
Kale nebwenandibadde njuki nandibadde worker bee
Bwe ntontoma totoma ojja n’osoma kisinga okkolimakolima
Mpologoma nnene etya kalalankoma
Egamba kaluma kaluma
Dodoma adodoma Kampala takoma takoma
Ndi maaso nga trachoma
Nooma nooma bwenzigya nga Geosteady owooma
Bwe mmala okutaama ng’omala okulaama
Tolama k’obeere Kedrick Lamar
Nkussaako laama nkuyisaako hummer
Nkuyisa nga Osama nga nze Obama
Bw’obama ogwa mu ggama
Oba mu ttama nga nnyama choma
Bwenzija basaasaana nga rumour
Nze tebanyoomanyooma
Maama mia
Ngye Mechi rap bwekaba kapiiya
Situuza niya dear nga Farouk Miya njiiya
Nze answer ya kkoyi kkoyi (ddya!)
So bboyi toyiiya
Bw‘ogamba onsinga ne nnyoko agamba shaa!!
Beef y’eri ku menu gw‘atagirya yayuuya
Deemuwo alina akasigazi nina akayuuya
Unstoppable nga musisi, mbayuuya
Hip hop saviour nzize yimba alleluya

Jim Nola Emcee Babe (Jim)
Hiphoptamus babe (envubu)
Somebody wants to die
Mujja kufa nga temulwadde
Abedunego
Envubu k’ezze ku lukalu
Ye ssaawa buli work emcee emimwagye agikube ekikalu
Yenze Jim Nola MC (Whooa, Whooa)
The son of Najjuma

Submit Corrections