Ezzadde Ly’ebikweno Lyrics – Paul Kafeero

Musaana mwekube myoyo
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Musaana mwekube myoyo mmwe
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo

Munnyambeko tunigguuke
Nti azaala ekibi akiwongerera
Mmala gabigereesa bino
Kuba ddala ndi mu nzikiza
Luzaalo lwangasaamu ki nze?
Nga mbyangatana odufuna
Nkyukakyukanye entegeka
Gguluddene ze yajja nazo
Abaana bammazeeko ebyewungula!
Ne bye ndya tebikyambukala
Nnyaabwe njula n’omugoba
Eyazaala ebikweno bino
Mpaawo mw’abo gwe ntuuza
Ne kye mugamba n’akkiriza
Nze bannyoomoola okamala
Mu baadiba ndi waakubiri
Kitammwe ki ddala mbuuze?
Oyo gwe mumanyi omundi?
Okunnyomoola ennyo mutyo
Mbagambe nga temumpulira

Musaana mwekube myoyo
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Musaana mwekube myoyo mmwe
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo

Mukavvu nabakyi ali wano?
Emiswaswangule ogiyola!
Babe ng’abantu abalabwa
Lubeera lw’e Kavumba kati
Tunaalaba emirembe gino
Kinaaba kyasa kya nkula ki?
Okaayuukananga olutata
N’entumbwe zaffe bannange
Kalungi ki munoonyereze?
Kafumbekedde mu nsi muno
Obugunjufu kika ki ate?
Obwola mu ngeri embi butyo!
Abamawulire musengejje
Kabulaŋŋana firimu
Bifaananyi ebitundwa nabyo
Ddala buseegu bwereere!
Nkugambye bikubuzaako ew’okwanika
Bikwasa n’ensisi obinyumya!
Natuuse n’okuwunga nze
Ne bw’ompita ssikyayitaba

Musaana mwekube myoyo
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Musaana mwekube myoyo mmwe
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo

Naabagunjula ntya ye?
Bwe mboggola tebanfanako
Mbawe ani gwe banaawulira?
N’ebyokkuba nabyabulira
Ssikyanenya bazoola kati
Ebibye n’adda mu biwema
Abaana be tuzadde luno
Bafuuse ekitakyasanyusa
Nze nabateekako amaanyi
Nga n’evvubuka linnyinula
Mbu mbaweweenyula okamala
Mpozzi okalya dda banterese
Beetemyetemyemu nabo
Abali abana abali abasatu
Neewunika mu nju wali
Ne mba nga gwe bakyabikira
Nga wabaddewo nga bayombye
Bw’oba mugenyi ositula
Obwala bamanyi obufunya
N’ebissi ne babiggyanayo
Emisango bagizza luno
Ne bwe ndiwa tebekya nako
Egy’embuto giringa lufu
Nze ewange tewakyasulika

Musaana mwekube myoyo
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Musaana mwekube myoyo mmwe
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo

Gwe mbadde ninamu essuubi
Ali mu kyakuna wabula
Ebiyita ekiro maawe
Yabiggyamu dda n’enjawulo
Gufiira kw’atazadde kuba
Omukuuma ka naye atalika
Namwekubako yanvanako
Yayinga kwambala nkunamyo
Lumu bajja bakwataganye
Gano amacupa ga waragi
Nnyabo ne bayita nnyabwe
Nafa ennaku yabaggulira!
Wali atunula ng’atalaba
Oyo kati ntya n’omunyega
Nkugambye ajja ne banne wano
Ne beekola ebitansanyusa
N’abamagye atera oba nabo
Olwo kitawe nsirika
Oba abaleetera Jenipher?
Ndaba ajja apakunkana ntakera
Siringi ze nyonoonye ntyo
Mbaweerere zifa ki kati?
Ne neeresa ebirungi nze
Nyambale obukumpulira

Musaana mwekube myoyo
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Musaana mwekube myoyo mmwe
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo

Abamu batuuka n’otunyaga
Wakati mu kutya obutafa
Kuba ayagala azaawe mbu
Ng’ezzadde lye teriijulire
Okulogaŋana entakera
Ebibanja ebinyagwa ennyo wano
Bw’obuuza ekibireese nate
Kuzaala kwe ku byanukula
Ddala ne bw’ogula emmotoka
Nti ogibawe bennyulule
Abaana badda mu cakala!
Bakwata eno bakwata muno
Omulala yapaala atyo
Mu baliddo ye lujuuju kati
Ndiyitawa ddala omunona?
Ku nnyanja gye batenda batyo
Sso baŋŋambirawo abandi
Nti okuzaala mu omu kibi
Ne nkyusanya mu budde obwo
Ng’era mmanyi kirinzigula
Oba mmale gawumpuguma
Mpangawukire etalabwa
Naye okwogerebwako nakwo
Mba kyeneena mu baalabise!
Nandimaze gabuulirira
Nti baana bange munsonyiwe
Bwe mwekolakola ennyo mutyo
Nange essanyu terimbukala
Ffe amaka mwe twasula ttogge
Omuli atakulinako lubu
Naye mmwe ab’ekyejo mutyo
Nnyumba ki eribaaniriza?
Ensi temunnaba giraba
Sso mu buli ngeri ekaluba
Ekyejo bwe kitaasalike
Ejja bafootola nnyo nayo

Musaana mwekube myoyo
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Musaana mwekube myoyo mmwe
Ne lwe ndifa mulujjukire
Kale ne bye nfuba obalaga
Musaanye muyitenga nabyo
Repeat chorus to fade

Submit Corrections