Abantu Babi Lyrics – Vincent Segawa

Wamma bikongoolo tebitta nnume ekula bigwo mundage amaanyi
N’abaneeriggyako banveeko ku lwammwe nti akasajja lwazi
Buli omu awanike omukono gwe ayatule era nti Mukama mulungi
Ekiseera kyonna tunakutendanga Mukama olina obuyinza
Nga tokkirizza tewali kinampangula ŋumira ku gwe taata
N’abalowooza nti be basinga amaanyi bonna obasinga
Wampanguza mu Mabira Ddunda lwe nali omuwambe
Buno mpa bujulizi nti nali nfudde kw’olwo naye nga Mukama tanakkiriza
Nze abantu nabavaako era kati Katonda gwe manyi nti ye wange
Engeri gye kiri nti tuva mu maka nga maawufu bwe kiri ne mu myoyo
Ne bw’ofuba n’oba mulungi omuntu ye muntu tatuulira awo
Weekolera kalimu ko obe bulungi omulala agamba ye ki tagyera?
Ow’omutima nga mubi era asigala mubi ye ne bw’omuyamba
Ate oba onakolaki asiime ow’omuze gwe guba muze gwe
So n’ettima tebaliyigiriza bukulu guba mutima bwe baagutonda
Tonenyanga muntu yava ku bantu wamma nange nkola binnyamba
Kankole ebyange binnyambe
Omunaku kaama bwe batugamba
Kankole ebyange binnyambe
Omunaku kaama werandize wekka

Munnange abantu babi
Kankole ebyange nkiyize
Tewaliiwo na kye baagala
Baali basaana mu nsi nga ndala
Abantu babi
Abamu emitima gya nsolo
Tewaliiwo na kye baagala no
Baali basaana mu nsi nga ndala

Atya omusana baalugera talya bwami nina okunywera
Enkuba bweba yankuba ne musana naaguma bye tulina okubaamu
Kula zikulabe n’okukula kwetta era kati ntoba kuba nazaala
Ddala ddala nga naawe oli muzadde abaana bange abato bw’onzita mbaleka wa?
Ye buno obulamu ki ekikussa munno nga naawe olifa?
Teriiyo Katonda ku nsi nnyini ggulu buno obulamu era ye nnyiniyo
Naye nga be nnyimbira okunjagala bw’oba ky’onvunaana
Waaliŋambye ne mbakulekera obayimbira nzireyo eka mu kyalo
Kuba obulamu bwange nkyabwagala ekirala ndi muzadde
Ndyokanga ne mba nga sirina bigambo kuba singa wanzita dda
Sso obulamu bwange nkyabwagala ekirala ndi muzadde
Ndyokanga ne mba ng’ebimu mbyesigaliza singa wanzita dda
Ng’okumpalabanya paka Mabira banzite nfiire eyo
Abannunula bajja lwakuba Mukama anjagala era kale ndifa dda
Ekiŋumya nti buli alina emirembe aŋamba guma gye bayita eyo
Nzikirizza ensi tugiyitamu na kubonaabona kaŋume Mungu gyali

Munnange abantu babi
Kankole ebyange nkiyize
Tewaliiwo na kye baagala
Baali basaana mu nsi nga ndala
Abantu babi
Abamu emitima gya nsolo
Tewaliiwo na kye baagala no
Baali basaana mu nsi nga ndala

Abagoba enkwe nga zituzza emabega tebali wala bali wano kumpi
Oli ayiiya n’akusibya wakiri ne zifulumirako mu kkomera
Ne gw’owola akasente ko tazza ne baba ng’abanyumirwa entalo
Bajja begonza, naye maama bakumalako ekikolagana n’abantu
Mbadde nfuna mmeka ndaba kino kisa kye kindabya ennaku?
Abalala nga babivaako tebakyayamba mwattu bali bulungi
Bazibu nno! Abantu!
Bwe batunula ssi bwe bafaanana
Tulaba ng’abantu engoye zitulimba naye emitima gyabwe gya nsolo
Kankole ebyange binnyambe
Omunaku kaama bwe batugamba
Kankole ebyange binnyambe
Omunaku kaama werandize wekka
Bamponinga lwakuba nkola bulungi bye nkola
Mbu ekyali jaribu kati nindeyo olulumba lwabwe olupya
Nayimba sisiiri abantu abo kye bankola!
Ne mbaddamu we balemeddwa okwekolera ate awo tebannyega kantu
Naye amalogo g’osindika eno, gajja kudda galinde
Katonda gwe nsinza bwatalinjabulira era sirivaawo
Nze ŋumira ku bampagira okwagalwa ssi kwegula
Mmwe mwegule tulibasangayo mu biwejjowejjo ne Award zammwe engule
Amaanyi ameemanye okweyogerera togiyita firimu eno
Abantu baawula ekibasanyusa era omwo mwe bakyayira be baayagalanga
N’omulala mugambe nti ow’e Kaliisizo ye muyimbi
Ku bantu ba kuno ntya ne mu kkubo kaŋende ngya kudda mangu

Munnange abantu babi
Kankole ebyange nkiyize
Tewaliiwo na kye baagala
Baali basaana mu nsi nga ndala
Abantu babi
Abamu emitima gya nsolo
Tewaliiwo na kye baagala no
Baali basaana mu nsi nga ndala

Submit Corrections